Spurs ekansizza Richarlison

Mu ddiiru ya Richarlison, kitegeerekese nti Spurs yaakusasula  obukadde bwa paawundi 50 oluvannyuma esasule obulala 10 ku zeeyongeramu okusinziira ku bw'anaaba akoze.

Richarlison
NewVision Reporter
@NewVision
#everton #spurs #Richarlison

RICHARLISON yeetegekera kukola 'medical' mu nnaku ntono eziddako ng'agenda kugikolera Brazil olwo alangirirwe ng’omuzannyi wa Spurs. Ttiimu eno y’emu era eri ku ndeboolebo z'okugula omuzibizi Djed Spence okuva mu Middlesbrough ku bukadde 15 obwa Paawundi.

Richarlison bwe yali ajaguza ng'ateebedde Everton Ggoolomu Mujoozi Gwa Spurs

Richarlison bwe yali ajaguza ng'ateebedde Everton Ggoolomu Mujoozi Gwa Spurs

Mu ddiiru ya Richarlison, kitegeerekese nti Spurs yaakusasula  obukadde bwa paawundi 50 oluvannyuma esasule obulala 10 ku zeeyongeramu okusinziira ku bw'anaaba akoze.

Richarlison waakufuuka omuzannyi owookuna okugulibwa Spurs mu kadirisa kano oluvannnyuma lw'okugula Fraser Forster, Ivan Perisic ne Yves Bissouma. 

Login to begin your journey to our premium content