Ebyemizannyo

Ronaldo ne Bissaka baakusigala mu ManU

NGA wasigadde olunaku lumu akadirisa k'okukyusakyusa abazannyi kaggweeko, omutendesi wa Manchester United, Eric Ten Hag azzeemu okukikkaatiriza nti Cristiano Ronaldo si wa kwabulira kiraabu kubanga amulina mu nteekateeka ze.

Ronaldo ne Bissaka baakusigala mu ManU
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision
Ono asinzidde mu lukung'aana lwa bannamawulire olw'okwetegekera omupiira gwa Leicester City ogunaabaawo mu kiro ky'Okulwokuna nga September 1 n'agamba nti n'omuzibizi Omungereza, Aaron Wan Bissaka wa kusigala olw'obwetaavu bw'okubeera n'abazannyi abawera kubanga emibiira egirina okuzannyibwa mingi.
 
Yayongeddeko nti Man U bw'emaliriza abazannyi okuli Anthony  ne Martin Dubravka tegenda kwongerayo muzannyi mulala mu kadirisa kano kubanga abazannyi abaliwo bamala okuva mu September ono okutuusa mu January wa 2023.
 
Ronaldo abadde anoonyaayo kiraabu mw'ayinza okuzannyira empaka za Champions League ave mu ManU eri mu Europa, nga kino yatandika okukiraga mu June naye tekijja kusoboka.
 
Omuportugal ono, 37, tatandise mipiira gya ManU ebiri egisembyeyo mwe bawangulidde Liverpool ne Southampton ng'omutendesi atandisa Marcus Rashford okukulembera olugoba oluteebi olwa ManU.
Wabaddewo essuubi nti yandiva mu ManU yeegatte ku kiraabu nga Chelsea, Atletico Madrid ne Napoli naye kati byonna tebikyasobose.
 
Ten Hag agambye nti newankubadde alaba ttiimu ye ekoze bulungi mu mipiira ebiri egiyise, eno ekyali ntandikwa era n'alagira nti ayagala abazannyi be bongeremu amaanyi mu mibiira egiddako nga batandika n'egwa Leicester City.
 
ManU eri ku ndeboolebo ya kumaliria omuwuwuttanyi Antony okuva mu Ajax ey'e Budaaki ku bukadde bwa Paawundi 85 mu emitwalo 50 ne ddiiru ya goolo kiipa, Martin Dubravka okuva mu Newcastle ku bbanja nga bano bongerezebwa ku bazannyi abapya omuli:Tyrell Malacia, Christian Eriksen, Lisandro Martinez ne Casemiro era Ten Hag agambye nti nga bano bawedde ttiimu ye ejja kuba ejjudde.
Tags: