GGOOLO ya Viktor Gyokeres esooka aba Arsenal gye babadde balinze ng'embaga, ewanzizza omutendesi Mikel Arteta omuliro, bw'alabudde ttiimu ze bagenda okuvuganya nazo.
Gyokeres gwe baaguze mu Sporting ku bukadde bwa pawundi 64, ku Lwomukaaga yateebye ggoolo ye esooka mu mujoozi gwa Arsenal, bwe baabadde bakuba Bilbao (3-0) mu gy'omukwano gwe basembyeyo.
Baabadde mu Emirates Cup. Ggoolo yabadde ya mutwe nga yavudde mu mupiira ogwasaziddwa Martin Zubimendi.
Gyokeres Bw'afaanana.
Endala, zaateebeddwa Bukayo Saka ne Kai Havertz. Nga yaakajja, abamu baali beeraliikiridde nti tasobola kuteebesa mutwe olw'okuba sizoni ewedde, mu mipiira 102, yateeberamu ez'omutwe 5 zokka.
Ng'omupiira guwedde, Arteta yalabudde ttiimu za Premier nti,"Ku luno tuli bamalirivu okutwala Premier.
Omuteebi gwe twalese agenda kumenyamenya ebisenge by'abalabe." Ku Ssande, Arsenal eggulawo ne ManU mu Premier nga guno Arteta agulinze nga mbaga okwongera okusirisa abateesi.
Mikel Arteta
"Ggoolo esooka kibeera kikulu. Engeri gye yagikubyemu yabadde nsuffu. Atambula bulungi n'omuzannyo era betuzaako batwerinde kuba ono (Gyokeres) teyazze kusaaga," Arteta bwe yagambye. Yayongeddeko nti, "Ku ntambula y'abazibizi ba Premier, tewali agenda kumukomya era kkabadda omugenda ebikopo twatandise dda okugitereeza."