Livingstone Mbabazi, omutendesi wa Arua Hill y’omu ku batunuuliddwa okulya obutendesi bwa BUL obujjuvu sizoni ejja. Ono waakusikira Alex Isabirye eyeegasse ku Vipers mu February w’omwaka guno.
BUL bwe yaviibwako Isabirye, eyali amumyuka Simeon Masaba n’amuddira mu bigere nga omutendesi ow’ekaseera. Ensonda zaategeezezza nti, Mbabazi yatuukiridde abamu ku bakulembeze ba BUL ku Lwokusatu okubaako bye boogera ku ky’okumuwa omulimu guno.
Wabula akulira emirimu mu kiraabu ya BUL FC, Joseph Mutaka bino yabiwakanyizza. Mbabazi mu kaseera kano takwatagana n’akulira mirimu mu kiraabu ya Arua Hill omuggya Pius Bamwange wadde nga (Bamwange) agamba nti ye talina buzibu ku Mbabazi.
Arua Hill eri mu kifo kyamwenda ku bubonero 23 mipiira 16 nga baakubiddwa emipiira ebiri egisembyeyo okubadde, KCCA (3-2) ne Maroons (2-0) e Luzira.