Erik ten Hag: Omutendesi wa Man U omupya atandise emirimu gye

Erik ten Hag alabiddwaako n'asuubirwa okumumyuka, Mitchell van der Gaag, nga bagenda mu lukiiko (olutakkiriziddwamu bannamawulire) mwe basisinkanidde abakozi ba Man U n'okwongera okuteesa ku ky'okuleeta omutendesi Steve McClaren okumugatta ku ttiimu y'abatendesi.

Erik ten Hag.jpg
By Wilson Ssemmanda
Journalists @New Vision
#Erik ten Hag #Man U #omutendesi

Bya Wilson Ssemmanda

London, England

Erik ten Hag alabiddwaako n'asuubirwa okumumyuka, Mitchell van der Gaag, nga bagenda mu lukiiko (olutakkiriziddwamu bannamawulire) mwe basisinkanidde abakozi ba Man U n'okwongera okuteesa ku ky'okuleeta omutendesi Steve McClaren okumugatta ku ttiimu y'abatendesi.

Erik ten Hag, 52 e Bungereza yatuuseeyo ku Lwakusatu n'asooka asigalako mu kibuga London okutuuza enkiiko n'abakozi nga tataataaganyizza nteekateeka za mupiira gwa Ralf Rangnick ogusembayo ng'omutendesi wa Man U ow'ekiseera ogunaabaawo ku Ssande nga Liigi ya Bungereza ewunzikibwa.

Ku Ssande Man U ejja kuba ezannya ne Crystal Palace ku kisaawe kya Selhurst Park era Ten Hag asuubirwa okutuula mu bawagizi agulabe.

Ono ye mutendesi asoose okuweebwa obuyinza mu Man U okuva Sir Alex Ferguson lwe yavaawo, okuba ng'alina obuyinza ku bazannyi b'ayagala okugula era yavuddeko n'okukola enkyukakyuka ez'omuggundu mu kitongole kya ManU ekizuula n'okugula abazannyi.