EMIPIIRA gy’amasaza ga Buganda ez’omulundi ogw’e 19 zitongozeddwa ku Bulange e Mmengo ng’era ttiimu ziri mu keetalo okwetegekera olutalo lw’ekikopo sizoni eno.
Empaka zino zaawangulwa essaza lya Busiro omwaka oguwedde bwe baakuba Buddu (2-1). Ku mulundi guno, Busiro y’egenda okuggulawo ne Mawokota mu kisaawe e Wankulukuku nga June 24.
Minisita w’abavubuka, emizannyo n’okwewummuza, Henry Ssekabembe Kiberu agamba nti, “Tetukyakola mizannyo nga tekuli kye tulwanirira kutuukako ng’era omulamwa gw’omulundi guno gugamba nti abasajja tubeere basaale mu kulwaniza akawuka akaleeta Mukeneya tusobole okutaasa omwana ow’obuwala.”
Ssekabembe, akubirizza abaami b'Amasaza, ne bamaneja ba ttiimu ssaako abawagizi okuwagira ttiimu zaabwe mu ngeri yonna esoboka kisobozese empaka zino okubeera ku mutindo.