OMUKWASI wa ggoolo, Tom Ikara yeegasse ku BUL FC mu liigi y’eggwanga ey’oku ntikko eya StarTimes Uganda Premier League. Ono waakuvuganya Said Keni ne Emmanuel Kalyowa ku nnamba ya ggoolokipa wa ttiimu eno asooka.
Ono abadde ku ttiimu ya Police FC eyasaliddwaako okuddayo mu Big League sizoni ewedde, BUL yamuwadde endagaano ya myaka ebiri okubataasa mu mpaka z’ekikopo kya Caf Conferderation Cup ze bagenda okukiikiriramu Uganda.
Yeegasse ku Frank Kalanda bwe baali mu Police FC, Emmanuel Obua (Kyetume) ne Ronald Otti (Mbarara City).