TTIIMU y’eggwanga ey’ebikonde ‘The Bombers’ ewera kuwumizza ya Burundi bwe bunaaba buzefuka enkya (Lwamukaaga) ku MTN Arena e Lugogo.
Zakuttunkira mu mpaka za liigi y’eggwanga ey’ebikonde (UBF Boxing Champions League).
Buli emu eyungudde abaggunzi b’enguumi 6 okuli abasajja 5 n’omukyala omu.
Burundi yatuuse mu Uganda ku Lwokusatu ng’ekulembeddwa Eric Ndayishimwe pulezidenti w’ekibiina ekitwaala ebikonde mu ggwanga eryo kw’ossa omutendesi Joseph Nkamicaniye.
Ronald Gayita owa Uganda (ku ddyo) ne Moussa Numubona owa Burundi K
Uganda ereese Ronald Gayita agenda okuttunkira mu buzito bwa fly ne Moussa Nimubona owa Burundi, Zahara Nandawula (Uganda) attunke ne Lilliane Nshimirimana owa Burundi mu buzito bwa ‘Feather’, Ukasha Matovu (Uganda) ne Rally Irokoze (Burundi) mu buzito bwa ‘welter’, Wasswa Ssali (Uganda) attunke ne Eric Mahatane (Burundi) mu buzito bwa ‘Light’.
Mu balala, Ronald Okello (Uganda) ali ne Ramadahan Nzeyimana (Burundi) mu buzito bwa ‘Middle’, Richard Kasuuja (Uganda) ne Nestor Nduwarugira (Burundi) mu bwa ‘Light Middle’.
Wakubeerawo n’enwaana endala ez’enjawulo era okusinziira ku Moses Muhangi, pulezidenti wa UBF ekibiina ekitwala ebikonde mu ggwanga enwaana zino zirubiridde okwongera okulinnyisa omutindo mu ttiimu zombi.