Amawulire

KCCA eboye ebintu by'abatundira ku mbalaza z'ebizimbe

Abasuubuzi abatundira ku maduuka ku kizimbe kya Qualicel abafulumizza emmali wabweru wa maduuka gaabwe basattidde abaserikale ba KCCA bwe babazinzeeko

KCCA eboye ebintu by'abatundira ku mbalaza z'ebizimbe
By: Eria Luyimbazi, Journalists @New Vision

Abasuubuzi abatundira ku maduuka ku kizimbe kya Qualicel abafulumizza emmali wabweru wa maduuka gaabwe basattidde abaserikale ba KCCA bwe babazinzeeko ne babowa emmaali yaabwe ne bagitikka ku mmotoka.

KCCA ng'ewanula obusawo obubadde bwawanikibwa ku mbalaza.

KCCA ng'ewanula obusawo obubadde bwawanikibwa ku mbalaza.


Bino byabaddewo ku Lwokubiri abaserikale ba KCCA abakulembeddwa Hakim Lubega ne Musa Mutyaba nga bawerekerwako poliisi ekkakkanya obujagalalo bwe baagenze ne babowa ebintu bya basuubuzi ababadde batundira ku mbalaza z'ebizimbe wamu n'okubowa ebimeeza kwe babadde babitadde .

Ekikwekweto kino kyatandikidde ku kizimbe kya Qualicel, abasuubuzi abamu bwe baabadde bafulumizza emmaali yaabwe  okuli engatto n'ensawo ne bateeka ku bimeeza ne batandika okutunda.

Omuserikale ng'aggyawo ekimu ku bimeeza okuteekebwa ebintu ebitundibwa ku mbalaza.

Omuserikale ng'aggyawo ekimu ku bimeeza okuteekebwa ebintu ebitundibwa ku mbalaza.

Lubega yagambye nti waliwo bannannyini maduuka abapangisa abalala okukolera ku mbalaza z'oku nzigi so nga kino tekikkirizibwa.

Yagambye nti era ebimeeza n'ebibaawo okutuuzibwa ebintu bivaako obucaafu n'okuziyiza mukoka okukulukuta obulungi, ekitakkirizibwa.

 

Yategeezezza nti abakyalemedde ku mbalaza z'ebizimbe bagende bakolere mu butale okwewala okukwatibwa mu bikwekweto.

Owa KCCA n'omuserikale nga basitula emmaali gye baaboye.

Owa KCCA n'omuserikale nga basitula emmaali gye baaboye.

Tags:
KCCA
Kubowa
Bintu
Mbalaza
Bizimbe