KKANSO ya KCCA esiimye emirimu gy'abadde Ssaabasumba w’essazaEkkulu erya Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga, bakkansala ne bamubbulamu oluguudo oluweza kkumpi mayiro e Nsambya.Bino byabadde mu kkanso eyatudde eggulo ku City Hall nga ekubirizibwa Sipiika Baker Kawalya nga yeetabyemu n’omumyuka wa Loodi Mmeeya Doreen Nyanjura.Oluguudo olutandikira ku Nsambya Sharing okwambuka ku ddwaaliro ly’e Nsambya ne luyita emabega w’ekitebe kya America okutuuka e Kabalagala. Oluguudolutuumiddwa Dr. Cyprian Kizito Road. Bakkansala baasoose kwagala kumubbula ku lutandikira ku nkulungo ya Nantawetwa e Mmengo okwambuka ku Lutikko e Lubaga kyokka ne batakkaanya okutuusa kkansala Allan Kahukire ow’e Makindye bwe yaleeseekiteeso kya luno.Abawadde ensonga nti ekitundu mwe luyita kijjudde pulojekiti za Klezia okuli eddwaaliro, Klezia amatendekero, sitoowa z’eddagala lya Klezia n’ennyumba za bafaazan’abakungu ab’enjawulo mu Klezia.Baamusiimye olw’okulwanirira eddembe ly’abannansi n’okukola pulojekiti ez’enjawulo ezitumbudde eggwanga naddala okukulemberamu omulimu gw’okuzimbaekiggwa ky’e Namugongo okukissa ku mutindo gw’ensi yonna ebifoby’abanaku (ebiddukanyizibwa ekitongole ky’Abasamaliya Abalungu),amasomero, WEEKEMBE, SAAFU n’ebirala bingi.Bakkansala eky'okubbula ppaaka ya ttakisi enkadde mu Hajji Musa Katongole owa UTODA baakigobye ne basemba nti, bakizzeeyo mu lukiiko lwa LoodiMmeeya Lukwago olufuzi banoonye oluguudo olumugyamu lwe bababamubbulamu naye nga si ppaakaya ttakisi.