Abakristaayo b'e Kitegomba batabuse lwa kukyusa Mmereewooma

2nd January 2025

ABAKRISTAAYO mu kkanisa ya St. John Kitegomba beesaze akajegere nga bawakanya eky’okukyusa omwawule waabwe  Abel Sserwanja Mmereewooma.

Ssaabadinkoni Kiwanuka (ku kkono) ng'akkakkanya Tom Bakyayita, omu ku Bakristaayo b'ekkanisa eno.
NewVision Reporter
@NewVision
62 views

ABAKRISTAAYO mu kkanisa ya St. John Kitegomba beesaze akajegere nga bawakanya eky’okukyusa omwawule waabwe  Abel Sserwanja Mmereewooma.
Baabaze ekiwandiiko ne bakiweereza mu ofiisi ya Ssaabalabirizi n’ey’Omulabirizi w’e Namirembe nga bagamba nti bakooye okubawanga abaweereza ate ne bababaggyako oluvannyuma lw’akabanga akatono.
Kino kiddiridde okufuna amawulire nti omwawule waabwe, Mmereewooma abadde yaakamalawo emyezi ena gyokka bamuggyeewo ne bamuweereza awalala. Mmereewooma yatumibwa e Kitegomba ku ntandikwa y’omwezi gwa August, omwaka guno ng’aggyibwa mu kkanisa ya St. Stephen’s Kireka.
Oluvannyuma lw’okutegeezebwa nti Mmereewooma abaggyiddwaako,Abakristaayo baatuuzizza olukiiko nga December 14, 2024 ne babaga ekiwandiiko kye bassizzaako
emikono n’ennamba zaabwe ez’obweyamo era kkopi baagiweerezzaako ne Ssaabadinkoni w’e Gayaza, Ven.
Can. Dunstan Kiwanuka Mazinga. Ku Ssande nga December 22, 2024 Ssaabadinkoni
Kiwanuka Mazinga ng’ali wamu n’omukubiriza w’Abakristaayo mu Busaabadinkoni,
Geoffrey Kulubya beesitudde ne bagenda e Kitegomba era gye baasabidde.
Mu kubuulira, Can.
Kiwanuka yakkaatirizza obukulu bw'emirembe, n’asaba Abakristaayo okusigala n'emirembe beewale eng’ambo, nti ze zireeta okumalawo emirembe.
"Mbasaba mwewale eng’ambo, ekkanisa erina mw’etambuliza emirimu, ate bw’eba eneekyusa abaweereza temala kwebuuza ku Bakristaayo, gwe babaweereza gwe mutambula naye, ate temucamuukirizibwa bantu abeenoonyeza ebyabwe,” Kiwanuka bwe yababuuliridde.
Oluvannyuma omukubiriza w’ekkanisa eno, Stephen yakkaatirizza ensonga y'okukyusakyusa  abaweereza n’agamba nti mu myezi ena basiibudde n’okwaniriza abaweereza, ate bagenda kuddamu ekintu kye kimu n’agamba nti kimenya Abakristaayo.
Ate Geoffrey Kulubya yeebazizza Abakristaayo olw’obutasirika nga waliwo bye balaba ebitatambula bulungi n’agamba nti balina obusungu
obw’ensonga.
Ensonda zaategeezezza nti, Mmereewooma ye yasaby  n’atwalibwa mu Bulabirizi bw’e Mukono gy’agenda okukola nga omumyuka w’akulira okuteekerateekera Obulabirizi buno, era ng'emirimu agitandika mu January 2025.
Ng’oggyeeko Mmerewooma, Omwawule Nathan Mulondo abadde mu kkanisa
ya St. Paul Kisimbiri mu Wakiso naye yasabye okukyusibwa n’atwalibwa mu Bulabirizi
bw’e Mityana gy’agenda okukola nga avunaanyizibwa ku byenjigiriza

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.