Amawulire

Waiswa envunyu azongerako omutindo n’akola akalungo

ENSANGI zino okulima n’okulunda kwetaagamu obuyiiya obw’amaanyi okusobola okukufunamu ekiwera.

Waiswa ng’alaga envunyu z’akazizza.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ENSANGI zino okulima n’okulunda kwetaagamu obuyiiya obw’amaanyi okusobola okukufunamu ekiwera.
Mu ngeri y’emu omulimi n’omulunzi alina okufuba okulaba ng’akozesa ebyo ebimwetoolodde okulaba nga bimuyamba okukola amagoba ge yeetaaga naddala okubifunamu emmere y’ebisolo ate n’ebigimusa eby’ennimiro.
Obumu ku buyiiya abalimi n’abalunzi bwe batandise okwettanira kwe kulunda envunyu ze baliisa ebisolo byabwe nga kati batandise n’okuzongerako omutindo nga bazikubamu ensaano ne bazikolamu akalungo.
Omu ku balimi abettanidde obuyiiya bw’okulunda envunyu n’okuzongerako omutindo ye Nicholas Waiswa, omutuuze ku kyalo Kiryowa ekisangibwa mu munisipaali y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe.
Waiswa ng’akola ne kkampuni ya Hatches Limited Uganda, agamba nti, mu biseera bino emmere y’ebisolo egenda efuuka ya buseere mu nsi yonna ekireetedde abalunzi obutakola magoba gasanyusa nga y’ensonga lwaki yeenyigira mu buyiiya obw’okulunda envunyu asobole okuleeta enkyukakuyuka mu Bannayuganda.
OKULUNDA ENVUNYU WEETAAGA KASASIRO
Waiswa agamba nti: Envunyu ezirundibwa zirimu ebiriisa eby’amaanyi ebizimba omubiri nga bw’oziriisa ebisolo gamba ng’embizzi, enkoko n’ebyennyanja bikula ku misinde mingi n’otajulira wadde birungo birala.
Ekirungi nti, okulunda envunyu zino teweetaaga bintu bingiokuggyako okufuna ebintu ebivunda gamba ng’emboga eziba zoononekedde mu butale, ennyaanya ezoonoonese, amapaapaali n’ebirala ebigwa mu kkowe eryo.
l Kino kitegeeza nti, ggwe asazeewo okuzirunda n’oluvannyuma oziriise ebisolo byo, osobola okusalawo n’ogendanga mu butale n’oggyayo kasasiro oyo abafuukidde ekizibu ate ggwe n’omuliisa envunyu zo n’ozifunamu ekisinga.
l Waliwo abantu abafuna okusoo-moozebwa mu kufuna ensweera ebiika envunyu zino emanyiddwa nga ‘black soldier fly’, osobola okusalawo n’ogula buguzi magi gaazo n’ogaaluza n’ofuna envunyu zino. 

Bwe weerundira envunyu okakasa omutindo 

Mu ngeri y’emu ne bw’okaluubirirwa okwaluza amagi, osobola okuzifuna nga zimaze okwaluzibwa n’ozifuna nga za nnaku ttaano n’otandikira awo okuzirunda okutuuka ku mutendera kw’ozaagala gamba nga okuziriisa enkoko n’ebisolo ebirala nga mbisi oba okuzikaza okutuuka ku mutendera gw’okuzikubamu ensaano.
l Kyokka waliwo n’abalunzi abeetegefu okuzigula nga zimaze okwongerwako omutindo gamba nga zikaze okusobola okuziriisa ebisolo byabwe, awo nno tweyongere okuzirunda kubanga akatale kagenda kagaziwa buli lukya.
BW’OLIISA EBISOLO BYO ENVUNYU ZE WEERUNDIDDE OKAKASA EBIRUNGO BY’OZIWADDE
Abalunzi abasinga baliisa ebisolo byabwe emmere erimu ebirungo eby’enjawulo kyokka ng’abamu tebamanyi na bwe bikolebwa.
Kati singa weerundira envunyu zo, oba weerundidde akalungo ate ak’obutonde ekitegeeza nti, ne by’ofulumya gamba ng’enkoko ziba zisobola okwettanirwa ku butale obw’enjawulo.
Ekirina okwegenderezebwa naddala singa oba wa kuzongerako mutindo ng’ozaanika, tolina kuziteeka mu musana butereevu kubanga waliwo ebirungo ebibaamu ebisobola okukendeera olw’okwakibwako omusana obutereevu.
Ekirungi ekirala ekiri mu kulunda envunyu kwe kuba nti, bw’omala okuzikungula, ate bye ziridde bivaamu ekigimusa eky’omulembe ennyo ate ekisobola okweyambisibwa mu nnimiro ekiyamba omulimi okufuna amakungula amalungi

Tags: