Amawulire

Vision Group esiimye abasinze okuzannya firimu z'Ebinayuganda' n'ebasibirira entanda: 'Muzannye firimu ezitambulira ku nnono z'Abafirika'

KAMPUNI ya Vision Group etwala ne Bukedde, egabye engule z'abazannyi ba firimu abasinze okukola obulungi ne bakuutirwa okuzannya firimu ezitambulira ku nnono z'Abafirika n'okukuuma omutindo kibasobozese okuvuganya ne firimu ezizannyibwa mu nsi endala.

Vision Group esiimye abasinze okuzannya firimu z'Ebinayuganda' n'ebasibirira entanda: 'Muzannye firimu ezitambulira ku nnono z'Abafirika'
By: Wilson Ssemmanda, Journalists @New Vision

Amyuka akulira kkampuni eno, Gervase Ndyanabo ye yakuliddemu okugaba engule zino okwabadde ku kitebe kyayo e Lugogo mu Kampala, ne yeebaza abazannyi ba firimu, ba pulodyusa, n'abawandiisi olw'okusitula omutindo gwa Firimu mu Uganda n'okukolla nga tebaweera ne mu mbeera nga tebasiimiddwa, kyokka n'abakuutira okuzannya firimu ezirimu okusanyusa abantu n'okuyigiriza ennono z'Abafirika kubanga ze ziraga gye bava.

Ndyanabo yagambye nti okukoppakoppa firimu ezizannyibwa Abazungu kiba kikulembeza empisa zaabwe nga n'ezimu si nnungi eri Abafirika kyokka ne zitalaga balabi nnono za Bafirika ababeera bazannya.

Kuteesa George William Ow'agataliiko Nfuufu Ng'akwasa Mathew Nabwiso Engule

Kuteesa George William Ow'agataliiko Nfuufu Ng'akwasa Mathew Nabwiso Engule

Cindy Ne Bba Prince Okuyo Babbye Show Mu New Vision Film Awards

Cindy Ne Bba Prince Okuyo Babbye Show Mu New Vision Film Awards

Cindy ne bba

Cindy ne bba

''Tulina ennono zaffe Abafirika kwe baatambuliranga okugeza, okuyamba, okubuuza, okudduukirira, empisa n'ebirala, tubasaba mwongere okubiggyayo nga muyiiya n'okuzannya firimu zammwe, era mujja kulaba ng'obuwagizi n'obuvujjirizi gye muli bweyongedde.'' Ndyanabo bwe yagambye.

Happy Kyazze Ow'omulere Ne Banne Okuli Aloysius Migadde Akuba Guitar Be Baasanyusizza Abagenyi

Happy Kyazze Ow'omulere Ne Banne Okuli Aloysius Migadde Akuba Guitar Be Baasanyusizza Abagenyi

Mc Raj Eyabadde Mc W'omukolo

Mc Raj Eyabadde Mc W'omukolo

Ate amyuka omukung'aanya ow'oku ntikko owa Vision Group, Felix Osike yatenderezza obuyiiya bw'abakozi ba New Vision abaategese empaka zino abaakulembeddwa Kalungi Kabuye okuyiiya eky'okuwa omukisa abasomi b'Olupapula lwa New Vision okwerondera abazannyi bo be balaba nga basukkulumye ku bannaabwe mu kuzannya firimu mu Uganda, n'agamba nti kino kyalaze okukiikirirwa kw'abantu abalaba firimu zino okulungi nga tebaalondeddwa balamuzi, wabula abawagizi.

Kalungi Kabuye, Eyakuliddemu Empaka Zino, Ng'akwasa Bba Wa Cindy, Prince Okuyo Engule

Kalungi Kabuye, Eyakuliddemu Empaka Zino, Ng'akwasa Bba Wa Cindy, Prince Okuyo Engule

Kitunzi Wa Vision Group, Fiona Tamale Ng'akwasa Jojo Nabakiibi Engule

Kitunzi Wa Vision Group, Fiona Tamale Ng'akwasa Jojo Nabakiibi Engule

Akulira bakitunzi ba Vision Group, Rogers Anguzo yategeezezza nti abasomi abasukka mu 1200 be beetaba mu kalulu kano ne balonda abazannyi bano mu biti eby'enjawulo mu kunoonyereza okwatwala ebbanga eriri wakati w'emyezi 2 -3.

N'asuubiza nti oluvannyuma lw'okulangirira abawanguzi waliwo ensonga nnyingi abasomi ze bazze babategeeza era basuubira nti omwaka ogujja enteekateeka ejja kusinga ku ebaddewo omwaka guno.

Edna Mubiru Ng'akwasa Jojo Nabakiibi Engule

Edna Mubiru Ng'akwasa Jojo Nabakiibi Engule

Amyuka Omukung'aanya Ow'oku Ntikko Owa Vision Group, Felix Osike Ng'akwasa Paul Okurut Engule

Amyuka Omukung'aanya Ow'oku Ntikko Owa Vision Group, Felix Osike Ng'akwasa Paul Okurut Engule

Amyuka Akulira Vision Group, Gervase Ndyanabo Ng'akwasa Kevin Johns Nabukenya (omuwandiisi Wa Lala) Engule

Amyuka Akulira Vision Group, Gervase Ndyanabo Ng'akwasa Kevin Johns Nabukenya (omuwandiisi Wa Lala) Engule

ABAMU KU BAAWEEREDDWA ENGULE

Firimu eyawangudde y'eyitibwa LALA nga yayiiyizibwa Kevin Johns Nabukenya, n'eddirirwa eya 'The Chains.

Dayirekita wa Firimu eyasinze banne ye Richard Mulindwa n'addirirwa  Sadat Yiga.

Abamu ku bakozi ba Vision Group abaakoze nga ba 'Ushers' okubudaabuda abagenyi

Abamu ku bakozi ba Vision Group abaakoze nga ba 'Ushers' okubudaabuda abagenyi

Omuzannyi omusajja asinze okuzannya ye Farooq Mutebi (owa 'Contention') n'addirirwa Shadic Smith Mateega. Ate Omukazi eyalondeddwa ng'asinze banne ye Joan Agaba n'addirirwa Doreen Mirembe.

Eyasinze okwolesa emisono ye  Joanah Jojo Nabakiibi, ate eyasunze okuwandiiko firimu za 'Ducumentary' ye Hilda Awori ne firimu eragibwa ku Ttivvi eyawangudde y'eyitibwa Sanyu eyayiiyizibwa Mathew Nabwiso n'endala nnyingi.

Tags: