Bya Eria Luyimbazi
Omwogezi w’ekitongole kino Jennifer Kalule Musamba yagambye nti mukokola ebigezo bino amateeka agakwata okulwanyisa ekirwadde kya Covid 19 galina okugobererwa omuli , okwambala masiki, okunaaba mungalo, n’okupima ebugumu lyabuli omu n’okuteeka amazzi wabweru w’ebibiina abayizi bwebagenda okukolera.
“Okutuula ebigezo by’akamalirizo ebya S4 kutandise naye waliwo ebirina okugobererwa nadala mu kulwanyisa okusasaana kw’ekirwadde ekya Covid 19 era abakuuma ebigezo n’abakulira amasomero bafubee okubiteeka munkola” Kalule bwe yategezezza.
Yagambye nti era mu kukola ebigezo bino abakulira amasomero balina okutekawo weema oba ebisenge ebyenjawulo omwebasobola okuteeka abayizi abazuuliddwa nga ebigumu ly’omubiri gwabwe lirinye kuba abamu batera okufuna ebigengo betaaga okubako webawumulira nebasobola okukola ebigezo nga bwe bakuumibwa n’owebyobulamu ali kumpi .
Yategezezza nti era waliwo abayizi abali mu mbeera ezenjawulo nga abali embuto, abayonsa, abaladde ba asima , ensimbu n’abalijna obuzimbu mu kusoma n’okuwandiika bakuwongerwamu edaaki 45 ku buli kigezo kyebakola olw’embeera gyebalimu.
Yagasseeko nti era UNEB yataddewo ensaaba etali yakusasulibwa abantu kwebasobola okuyita okutuusa ku kitongole abawulire kwwobo bebasuubira okwenyigira mu miviyo n’okubba ebigezo nga eri 0800211077 era nga abanaagiwa amawulire tebajja kwasanguzibwa singa amawulire gebanaba bawadde nga matuufu.
Yagambye nti mubigezo by’omwaka 2020 abayizi 333889 bebewandiisa okubituula mu bibifo 3935( Examination centers) nga ku bano kuliko n’abasibe 47 abagenda okutuulira mu komera e Luzira.
Abayizi abatudde ebigezo batandise n’ekigezo kya Physics ku makya nga olwegulo batudde ekigezo kya Fine art