St. Julian, Kawempe ne Kimaanya ziwanduse

13th May 2025

ENDIBA yonna gye baafuumuula omwaka oguwedde ne basitukira mu kikopo ky’amasomero ga sinya, St Julian yayenjebuse.

Omuzannyi wa Kitende (ku kkono) ng’attunka n’owa Kimaanya.
NewVision Reporter
@NewVision
12 views

Egy’amasomero e Ngora
St Julian 1-3 JIPRA
Kimaanya 0-3 Kitende
Kawempe 0-1 Bukedea
Kichwamba 0-1 Kyaddondo
Buddo 3-0 Wisdom High School
ENDIBA yonna gye baafuumuula omwaka oguwedde ne basitukira mu kikopo ky’amasomero ga sinya, St Julian yayenjebuse.
Eggulo, yakubiddwa Jinja Progressive Academy (3-1) n’ewandukira ku luzanya lwa ttiimu 16 mu mpaka eziyindira ku Ngoro High School.
Mu ngeri y’emu, Blessed Sacrament Kimaanya eyakwata akati mu gy’omwaka oguwedde, yakubiddwa St Mary’s Kitende n’ekoma awo. Kawempe Muslim, Uganda Martyrs Lubaga ne Standard High Zzana nazo zawanduse.
St Mary’s Kitende, Bukedea Comprehensive ne Kyaddondo ziri ku ‘quarter’ nga zirinze kufaafaagana okulwanira semi. Omutendesi wa St Mary’s Kitende, Hassan Zungu yagambye okukuba Kimaanya kibongera maanyi kuba y’emu ku ttiimu ezibadde zisinga okuzanya obulungi.
Ggoolo za Kitende zaateebeddwa Farouk Tumwesigye, Ashiraf Kyakuwa ne Agok Santos. ‘Quarter’ za leero.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.