Kyangu, omukyala ali olubuto okutuuka ku ntikko ekimuyamba okumatira mu mutima ne situleesi ne zimuggwaako.
Dokita Kadaga agamba nti omukyala bw’aweza emyezi ena ng’ali lubuto, entambuza y’omusaayi gwe yeeyongera era n’obwagazi ne bulinnya.
Kyokka buli mukyala lw’amalamu akagoba, abaako ebirungo by’afulumya (endorphins ne oxytocin) ne bimuwuliza bulungi munda ate nga kikulu nnyo, omukyala owoolubuto okuba omusanyufu essaawa yonna.
l. Okwegatta ng’oli lubuto, kika kya dduyiro, ekizingiramu enkozesa y’omubiri n’enkuba y’omutima n’erongooka ne kiyamba omukyala okwekuuma ng’ali ffiiti n’atafuna mugejjo gususse. Mu kukola dduyiro ono, ne puleesa ekka, mw’abo abakyala abatawaanyizibwa okulinnya kwa puleesa.
2. Abakyala abanyumya akaboozi,bakkakkana era n’otulo ne bafuna. Okukkakkana kulungi, kuwa omukyala obulamu n’atatawaanyizibwa ndwadde za mutima. Bongera okwekkiririzaamu nti wadde bali lubuto, bakyasobola okukola ebintu bye bimu bye baakolanga nga tebannafuna lubuto.
3. Kugatta abaagalana ne kubabeeza wamu era omukyala afuna okumatira nti omwami we, amuliko era wabaawo omukwano.
4. Ng’omukyala owoolubuto bw’atuuka amangu ku ntikko, kimuyambako mu kumenya kuba mu kutuuka ku ntikko, ebinywa biba byegatta bwe byegattulula nga kino kiyambako n’akawogo okuba nga kasobola okusiba omusulo ne gutatonnyerera.
Kyokka era bwe kituuka mu kuzaala, kiyambako kuba ebinywa by’omu kiwato ne mu bisambi, biba byamanyiira okwesiba nga bwe byesimulula ekiyambako mu kubinyweza essaawa y’okulumwa ebisa ne bw’eba etuuse.
Ebinywa bino eby’omukiwato, bikulu nnyo mu kuwanirira nnabaana, akawago ate nga bikulu nnyo mu mukyala ali olubuto. Ne bw’aba atuuse okuzaala, kyandimuyambako kuba wano we wali ekkubo, omwana mw’ayita.
5. Okwegatta kw’omukyala ali olubuto era kumuyamba okulongoosa entambula y’omusaayi mu mubiri gwe.