Sheikh Umar kamoga Muwonge amanyiddwa ng'omusomi w'edduwa e Nansana asindikiddwa mu kkooti enkulu atandike okuwozesebwa ku musango gw'okukusa omuwala omuto n'ekigendererwa ky'okumukozesa mu bikolwa by'omukwano.
Sheikh Umar abadde omuwotofu asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ye Nansana Irene Nambatya n'asomerwa ebikwata ku musango guno gwagambibwa nti yaguzza wakati wa 2018 ne 2023 mu makage bweyatigatiga n'ekigendererwa ky'okumusobyako.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Brenda Najjuko lutegeezezza kkooti nga okunonyereza bwekwawedde nga Umar asaanidde asindikibwe mu kkooti enkulu era nazzibwa ku limanda mu kkomera e Kigo okutuusa kkooti enkulu lweliyita fayiro y'omusango gwe.
Wano eyaliko omumyuuka wa mmeeya wa munisipaali ye Nansana Isaac Ssali wasinzidde n'asaba basajja okweddako era bewale ebikolwa by'okuganza abaana abato bwatyo nasaba kkooti elamuze obwenkanya ku nsonga za Sheikh Umar
Comments
No Comment