SENTEBE w’ekkanisa ya Shincheonji church, Lee Man-hee akuutidde Bapaasita beewale enjiri eyawula kubanga abantu bonna bali kimu mu Katonda.
Abalabudde nti essira baliteeke ku kufuna okubikkulirwa basobole okufuna amagezi ag’omubiru n’omwoyo.
Lee abategeezezza nti okubikkulirwa kitegeeza kuteekawo bitonde biggya kubanga ne mu kubikkulirwa 21 kyalagibwa nti ensi n’eggulu ebyasooka byavaawo ne wajjawo ebipya.
Lee 3
“Okunnyikiza ekigambo ky’okubikkulirwa mu mitima gy’abantu gegabeera amakungula, okuteeka envumbo ku kukkiriza kwabwe n’okwefunira ekifo mu Bwakabaka bwa Katonda” Lee bw’aggumiza.
Asinzidde mu lukung’aana lw’abamawulire olwabadde ku mutimbagano nga April 2, mw’ayogeredde eri Bapasita 1,500 okuva mu mawanga ag’enjawulo okubabuulira okwongera okunnyikiza enjiri ey’okubikkulirwa.
Bapasita beeyamye nti basobola okuyiga enjiri ey’okubikkulirwa okuva mu kkanisa ya Shincheonji church kubanga eriko omukono gwa Katonda.
Olukung’aana luno mw’aweeredde lipooti ku bye batuseeko mu semina z’okubuulira enjiri ku mutibagano ezaatandika omwakaoguwedde.
Omukwanaganya w’emirimu gy’ekkanisa ku mutendera gw’ensi yonna, Kim Shin-chang agambye nti bangi abazze beetaba mu nteekateeka z’emisomo gino okuva mu August omwaka oguwedde okuli n’abavudde mu Uganda.
Yagambye nti wano webasinziira okukola engagaano ne Worship in the Presence of God Church in Uganda
Tu 1
Pasita Willifred Endohu, okuva mu Cote d’Ivoire (Ivory Coast) yagambye nti yasoma eby’eddiini mu seminary kati n’atandika ekkanisa kati emyaka 11 aweza bammemba 500 kyokka yazzeeyo ali mu kusoma ku Shincheonji’s Zion Mission Center era by’ayize bimuyambye okutegeera ebisingawo n’akyusa.
Abakuutidde okubeera abalwanirizi b’eddembe, bino byeyolekera mu makanisa agatandise nga The Early Church of the New Era mu Amerika, kato abantu 100 bali mu kusomesebwa ebikwata ku Shincheonji Church of Jesus.
Kati balina Bapasita 2155, eminary 22, amakanisa 958 gatandikiddwawo mu mawanga 67. Shincheonji Church of Jesus ebasomesa eby’eddiini n’okubawa abasomesa.
Comments
No Comment