MINISITA avunanyizibwa ku nsonga z'amawang ga East Africa Rebecca Alitwala Kadaga atenderezza eggwanga lya Chiana olw'enkulaakula gyebaleese mu Uganda.
Kadaga asabye abachina okwewala okuleeta eby'amaguzi mu Uganda ebifaanagana n'ebikolebwa wano ng'ate biri ku ssente ntono olw'ensonga nti kiyinza okuvaako eby'enfuna bya Uganda okudda emabega
Giweze kati emyaka 60 bukyanga Uganda etandika okukolagana n'eggwanga lya China era ng'enkolagana eno evuddemu ebibala bingi omuli okuzimba enguudo, okutumbula eby'enfuna, ssaakoi n'ebyenjigiriza.
Peter mwawiza omukungu okuva mu investiment Authority ng'alina by'annyonnyola
Ye DR Primrose Nakazibwe agamba nti abakyala ba Uganda basobola okweyambisa enkola z`abakyala be China nga betandikirawo emirimu egy'okwekulaakulanya.
Omukungu okuva mu kitongole ekivunanyizibwa ku bamusiga nsimbi ekya (Uganda Investment Authority) Peter mwawiza yeebazizza abachina okutumbula eby`enfuna era n`ategeeza nga gavumenti bweli enneetegefu okukolegana bano
Ye ambasada wa China mu Uganda yeebazizza Gavumenti olw`embera ssaako n`enkolegana ennungi gyetereddewo abachina okukolera wano n'ategeeza nga ekilwadde kya COVID-19 bwekyazza ennyo abantu emabega nga kati abantu kibetaagisa okkola ennyo.