Poliisi eyodde 150 mu bikwekweto byayo okwetooloola eggwanga

3rd December 2024

ABANTU abasukka mu 150, bayooleddwa mu bikwekweto eby'enjawulo, mwe bazuulidde n'enjaga wamu n'ebyuma ebyeyambisibwa mu kubba.

Poliisi eyodde 150 mu bikwekweto byayo okwetooloola eggwanga
NewVision Reporter
@NewVision
#Kituuma Rusoke #Bugiri #Iganga #Kakiri #Katooke #Nansana #Nabweru #Kireku #Bweyogerere

ABANTU abasukka mu 150, bayooleddwa mu bikwekweto eby'enjawulo, mwe bazuulidde n'enjaga wamu n'ebyuma ebyeyambisibwa mu kubba.

E Kireku, Kakajjo, Mbalwa  ne Kirinnya  mu Bweyogerere mu munisipaali y'e Nakawa, abawera 38 bakwatiddwa.

Abalala, bayooleddwa okuva e Kawuga, Nantabuulirirwa e Ggoma Mukono , abantu 25, bakwatiddwa so nga yo e Kasolo , Bugambwe e Iganga 23 , bayooleddwa mu kikwekweto.

E Bugiri ku kyalo Nkuusi ward, bayodde 30 ate e Kyanja ne Katumba abawera 40 bakwatiddwa ne babaggalira.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, yategeezezza nti e Namayingo mu bitundu by'e Buyinja ne Kukuyo, bakukunuddeyo 5 ate Katooke ne Wamala e Nabweru 8 bayooleddwa ne Ppikippiki 3.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.