Poliisi esse omutemu eyatemye abaana

Apr 30, 2024

OMUTEMU abuuse ekikomera emisana ttuku n’agwa munda ne yeggalira mu nnyumban’abaana 4 ng’akutte ejjambiya okubatema ng’eno bw’asaba nnyaabwe ssente obukadde

Godius Akunda naye baamutemye

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

OMUTEMU abuuse ekikomera emisana ttuku n’agwa munda ne yeggalira mu nnyumba
n’abaana 4 ng’akutte ejjambiya okubatema ng’eno bw’asaba nnyaabwe ssente obukadde


5. Olwo maama yabadde munda mu kikomera kyokka nga mu kiseera omutemu bwem yabuukidde ekikomera yabadde mmanju ng’ayanika ngoye, yagenze okudda emiryango ng’omutemu yeesibiddemu.

Omwana eyatemeddwa

Omwana eyatemeddwa

Bwe yalingizza mu ddirisa yagenze okulaba ng’abaana be bana okuli Maria Zoe Ampaire 5, Lucia Atuhaire, 2, Blair Musiime 7 ne Godius Akunda 14 omusajja agaludde ejjambiya okubatema okuggyako nga bamuwadde obukadde 5.


Bino byabadde mu maka ga Anitah Ayebare ne Christopher Ngabirano e Ndejje- Mirimu mu Makindye Ssaabagabo ku ssaawa 4:00 ez’oku makya. Omukazi yakubye
enduulu, eyasombodde abatuuze ne bayita ne Poliisi eyatuuse oluvannyuma lw’eddakiika nga kkumi ne batandika okwegayirira omutemu asse wansi ejjambiya.
Kyokka omutemu yeeremye n’agamba nti abaana alina okufa nabo, n’atandika okutema omwana omu, kw’omu , P:oliisi netandika okukuba amasasi mu bbanga.

Wakati mu kavuvungano awo, omuserikale wa Poliisi Davis Orishaba yayingidde mu nnyumba n’alabiriza omutemu n’amukuba amasasi agaamuttiddewo.

Kansala w’e Ndejje, MirimuIsmail Kasozi yategeezezza ntiomuvubuka ono azze mumalirivu wabula poliisi yasobodde okumukuba amasasi agaamuttiddewo kyokka abaana be baatemye baatwaliddwa mu ddwaliro nga bali mu mbeera mbi.

Omwana eyatemeddwa

Omwana eyatemeddwa

Abatuuze baasanyukidde obukugu Poliisi bwe yakozesezza ne beebaza akulira ekitongole kya Crime Intelligence e Katwe, Ismail SsenonoAkulira okunoonyereza ku bbuzzi bw’emisango ku poliisi y’e Katwe, Rashida Naluzze yategeezezza nti bagyewo omulambo gw’omutemu naye talina bimwogerako wadde okuleka essimu. Oluvannyuma omulambo gwatwaliddwa mu ggwanika Maama gwe baabadde e Mulago

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});