Omuvubuka agambibwa okwekobaana n'abantu abalala abeebijambiya ne banyaga pikipiki okuva ku muvuzi wa bodaboda, akwatiddwa poliisi.
Moses Zziwa, y'akwatiddwa ku bigambibwa nti yabadde ne munne atannakwatibwa ne bapangisa pikipiki okuva e Kyengera nga badda Mpigi nti kyokka bwe baatuuse eyo, ne beegattibwako abalala ne banyaga pikipiki nnamba UDX 457 B Bajaji, essimu ne ssente.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire agambye nti mu kukuba enduulu baasobodde okunyweza Zziwa era n'abatuusa ku pikipiki gye baabadde bakwese mu paakingi mu zzooni ya Wakimese e Kyengera. Ayongeddeko nti omuyiggo gw'abalala, gukolebwa.