Amawulire

Poliisi ekutte 3 ku by'okutunda ennyama enzibe e Nakulabye

Ennyama y'ente bbiri, babadde bagitambuliza mu mmotoka ekika kya Wish nnamba UBG 345D era nga babakwatidde Nakulabye mu Kampala nga bagiggya mu mmotoka.

Poliisi ekutte 3 ku by'okutunda ennyama enzibe e Nakulabye
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Abantu 3 abagambibwa okwenyigira mu bubbi bw'ebisolo naddala ente, bakwatiddwa lubona e Nakulabye n'ennyama embaage.

Ennyama y'ente bbiri, babadde bagitambuliza mu mmotoka ekika kya Wish nnamba UBG 345D era nga babakwatidde Nakulabye mu Kampala nga bagiggya mu mmotoka.

Kigambibwa nti bakwatiddwa aba Flying Squad ababadde babalondoola ekiro.

Abakwatiddwa, kuliko Ssaalongo Saka Kisiga , Hamza Guloba nga mutunzi wa nnyama ne John Bukenya nga ddereeva.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala Racheal Kawala, agambye nti bandiba ng'ente baazibbye Ziroobwe e Luweero era nga kkiro babadde bagitunda 10,000/= e Nakulabye.

Tags:
Amawulire
Kampala
Mmotoka