Amawulire

Paasita Bugembe asabye abantu okuleka ebibasoomooza mu 2023

OKUSABA kw'okumalako omwaka ku The Worship House e Nansana kukulembeddwaamu omusumba Wilson Bugembe, ng'ono asabye abantu okuleka byonna ebibasomooza mu 2023 era batandike essuula empya mu mwaka 2024.

Omusumba Bugembe ng' abuulira e Nansana ku kumalako omwaka.jpg
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Steven Kiragga

OKUSABA kw'okumalako omwaka ku The Worship House e Nansana kukulembeddwaamu omusumba Wilson Bugembe, ng'ono asabye abantu okuleka byonna ebibasomooza mu 2023 era batandike essuula empya mu mwaka 2024.

Bugembe ategeezezza nga Katonda bw'agenda okubaako omuntu gw'asitula mu buli ffamire okubeera omujulizi nti Katonda akola ebikulu bw'atyo n'asaba abantu okwongera okunywerera ku Katonda.

Ono ategeezezza ng' omwaka 2024 bwe gugenda okubeera omwaka omulungi okusinga gyonna egiyise. Ebiriroliro bikubiddwa, abakirizza ne bacaamuka nga bwe basinza Katonda.

Ono Ng'amazina  Gamutta Mu Kusaba Kw'okumalako Omwaka.

Ono Ng'amazina Gamutta Mu Kusaba Kw'okumalako Omwaka.

Mr.lee Omu (wakati) Omu Ku Bayimbi Ba B2c Nga Yeetabye Mu Kusaba Ewa Bugembe

Mr.lee Omu (wakati) Omu Ku Bayimbi Ba B2c Nga Yeetabye Mu Kusaba Ewa Bugembe

Abamu Ku Beetabye Mu Kusaba Ku Worship House E Nansana Nga Banyumirwa Ebiriroliro.

Abamu Ku Beetabye Mu Kusaba Ku Worship House E Nansana Nga Banyumirwa Ebiriroliro.

Okusaba kuno kwetabiddwaako abantu ab'enjawulo omuli: abayimbi, bannakatemba, bannabyabufuzi n'abalala nga wano Bugembe waweeredde obunnabbi nti byonna ebitawaanya abantu omuli obwavu, eddogo n'ebirala bwe bigenda okufuuka olufumo.

Abantu abasuze mu kusinza basanyusibwa ennyimba eziryowa emyoyo era bangi batuuse n'okubinuka amasejjere okwebaza Katonda olwokubatuusa mu mwaka omuggya.

Tags:
okumalako
omwaka
Paasita
Bugembe