PAAPA yalonze erinnya eriraga ky’agenda okubeera mu kusoomooza Klezia
kw’erimu nga kyetaagisa kuggyayo maanyi ne bwe gabeera ga ssaala waakiri gandibadde nga ga mpologoma.
Erinnya Leo, Kalidinaali Robert Prevost, Omumerika eyalondeddwa ku Bwapaapa lye yalonze, ensibuko yaalyo eri mu Lulatini n’Olugereeki (Greek) nga litegeeza
mpologoma.
Bapaapa abawera 13 abaamusooka okulonda erinnya Leo, bonna bazze bakola ebyafaayo mu Klezia ebirimu n’okulwana entalo ng’abatalina ddiini bagitwala. EYASOOKA OKULIRONDA LWE YALWANA NG’EMPOLOGOMA OKUTAASA KLEZIA
Paapa eyasooka okulonda erinnya eryo ye Paapa Leo I. Yalondebwa mwaka gwa 440 n’afa mu gwa 461.
Yayisa Klezia eyali ekyali ento mu kaseerezi k’abasamize mu Roma ng’Obwakabaka bwabwe bwakakkiriza eddiini kyokka nga bangi tebannakikkiriza nti, eby’okusinza enjuba ng’omu ku balubaale baabwe babivuddeko.
Entalo nnyingi ze yalwana okutaasa Roma ne ze yawugula ku baali baagala okulumba ekibuga ekyo, bye yakola okugatta abakkiriza, empenda ze yatemera Klezia okuginyweza mu Katonda n’ebirala, byamuweesa ekitiibwa kya Great.
Kati ayitibwa Leo Magnus eky’Olulatini ekitegeeza Leo the Great, mu Luganda ekivvuunulwa nti, Leo ow’amaanyi oba asukkiridde.
‘Magnus’ kitegeeza Ekisusse obunene era bw’abeera muntu aba asusse.
Paapa Leo yafuuka omutuukirivu n’agattibwako n’ekitiibwa ky’Obunene. Bapaapa abaakafuna ekitiibwa ekyo bali basatu bokka ate okusinziira ku kitabo kya Annuario Pontificio, ekimu ku bifulumya ebiwandiiko bya Klezia ebitongole, Leo I ye yasooka okukiweebwa.
Bapaapa abalala kuliko Paapa Gregory I ne Nicholas I. Mu kadde kano ng’entalo zeefuze ensi nga bw’olaba olwa Ukraine ne Russia, olw’e Gaza, olwa Pakistan ne India n’endala ezitafiibwako nnyo mu nsi, Paapa omuggya okulonda erinnya lya Leo, yabadde ayagala kufuna mwoyo eyakozesa Leo eyasooka okulwana n’amalawo entalo z’obudde obwo.
Kyokka era olw’okuba ng’ajjidde mu kiseera nga Eklezia alumbibwa mu buli nsonda ya nsi, kiraga nti, azze mwetegefu okumulwanirira mu buli mbeera.
PAAPA LEO XIV AYAGALA KUTANDIKIRA PAAPA LEO XIII WE YAKOMA
Leo I, si ye yekka Paapa Leo XIV gw’agezaako okutambulira mu bikolwa bye wabula ne Paapa Leo XIII. Leo owa XIII yalwanirira nnyo eddembe ly’obuntu n’ery’abakozi. We yabeererawo bwali budde bwa kiwendo ekimanyiddwa nga Industrial revolution
nga bannamakolero batandise okufuna amaanyi olwa yingini eyali evumbuddwa. Abakozesa naddala bamusiga nsimbi, beeyisizanga bwe baagadde ku bakozi omuli
n’emisaala emitono ng’olwo enkola ya nnaasiwa mu kange y’ekola. Mu kadde ke kamu ne zi Gavumenti ezaalina enkola ya nnaakalyako ani, nazo nga zeefudde bbeereeje mu
kunyaga ebyobugagga by’abantu nga beekweka mu kugamba nti, byonna balina kubikozeseza wamu.
Paapa Leo XIII yavumirira enkola zombi n’agamba nti, wateekwa okubaawo enkola
etanyigiriza bantu mu byenfuna.
Omu ku bakugu mu kugoberera eby’enzikiriza mu Manhattan University
eya America ayitibwa Natalia Imperatori-Lee, yabadde awa ebirowoozo bye ku Paapa okulonda erinnya eryo n’agamba nti, ku nsi ejjudde obutali bwenkanya, yayagadde atwale, omulimu gwa Paapa Leo XIII gwe yaleka atandiseeko, mu maaso. Paapa Leo XIII yakulembera Klezia wakati wa 1878 ne 1903, yasima omusingi gw’obwenkanya mu Klezia ey’omulembe guno n’eddembe ly’obuntu mu nsi yonna gye liri.
Omwogezi wa Vatican, Matteo Bruni naye yakakasizza okusinziira ku mawulire ga France24 nti, Paapa yabategeezezza nga yaakalondebwa, nti, ayagala kutwala mulimu gwa Paapa Leo XIII mu maaso.
BY’AFAANAGANYA PAAPA FRANCIS
Wadde alabika ng’alina bye yatandise okukyusa okwawukana ku Paapa Francis, Paapa Leo XIV tajja kumwawukanako nnyo. Okusooka, ebyambalo by’Obwapaapa ebitongole yabyambadde wadde nga Francis yabigaana n’ayambala by’ebbeeyi entono ddala. Wadde kiri kityo, bye bafaanaganya bingi kubanga n’ekibiina ky’aba Augustine order ky’agoberera era ky’azze akulembera, kikkiririza mu kuyamba abatalina mwasirizi, eddembe ly’abanyigirizibwa n’abaavuPaapa Leo XIV kennyini ageraageranyizibwa
n’omutuukirivu Francis owa Assisi. Francis oyo, ye yavaako Paapa Francis okulonda
erinnya eryo ng’agezaako okwerumya, okuyamba abanaku, abanyigirizibwa, eddembe
ly’ebisolo n’ebinyonyi kw’ossa n’obutonde bw’ensi. Ebyo by’ebimu era ku bisinga okusoomooza abantu mu nsi yonna essaawa eno ng’ogasseeko eddembe ly’abaana n’abakyala, okulwanyisa endwadde, okunnyikiza eddiini n’ebirala ebirinze
Paapa Leo XIV okubisalira amagezi ng’empologoma eterina ky’eremererwa.
Comments
No Comment