Amawulire

Ow'emyaka 15 agudde mu kidiba omuggyibwa ebbumba n'afiirawo

Abatuuze b'e Kitende  B mu Canan Estate  ekisangibwa mu ggombolola y'e Kajjansi baguddemu entiisa oluvannyuma lw'omwana wa mutuuze munnaabwe  okugwa mu kidiba kye baggyamu ebbumba n'afiiramu.

Lubbira ng'anoonya omulambo. Ate ku ddyo jjajja w'omugenzi Safina  Nambooze.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Yudaaya  Namyalo

Abatuuze b'e Kitende  B mu Canan Estate ekisangibwa mu ggombolola y'e Kajjansi baguddemu entiisa oluvannyuma lw'omwana wa mutuuze munnaabwe okugwa mu kidiba kye baggyamu ebbumba n'afiiramu.

Swabulu Kato  ow'emyaka 15 yagudde mu kidiba n'afiiramu nga kigambibwa nti abadde  ne banne nga batolose ku bazadde baabwe  ne bagenda okuwuga mu biseera by'amalya g'ekyemisana eggulo.

Abatuuze okukitegeera,  waabaddewo abaana  abaabadde  badduka nga bwe balekaana  nti afudde era  baagenze okutuukayo nga  yamaze okubbira .

Kino kyawaliriza abatuuze okwesomba    okulaba ogubadde wabula ne bavumirira  amakampuni  g'abalombe abakozesa ebisenyi  n'ebamala ne balekamu ebidiba ebifuuse ebyobulabe eri abantu abaliriraanyewo.

Bano basabye  ekitongole  ekivunaanyizibwa ku butonde ekya NEMA kibeeko  ky'ekola basobole okutaasa obulamu bw'abantu .

Wano n'abooluganda  lw'omugenzi nga bakulembeddwaamu  Safina  Nambooze jjajjaawe  w'omugenzi  nabo webatuukidde wakati mu miranga  n'ebiwoobe.

Abatuuze baakubidde poliisi y'e Kajjansi  n'etuuka  nga telina bikola  oluvannyuma nayo nekubira balubbira  basobole okunyulula omulambo .

Balubbira nabo batandikidewo ogwabwe era  omulambo ne bagunyulula n'ebagutwala mu ggwanika e Mulago ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso .

Omwogezi wa Poliisi ku Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango akakasizza  akabenje kano wabula n'akubiriza abazadde okukuuma abaana baabwe,  okwewala obubenje nga buno.


  .

 

 

Tags:
agudde
kidiba
ebbumba
afiirawo