Ow'emmotoka eyapacca omuwala empi lwa kumugambako bamutanzizza emitwalo 40

OMUVUBUKA kasunguyira eyava mu mmotoka n'apacca omuwala empi olw'okuba amugambyeko okubakubamu amataala kkooti e Mengo emutanzizza emitwalo 20 n'okusasula gwe yakuba emitwalo 40 nga bwe bimulema asibwe emyezi mukaaga mu kkomera.

Ow'emmotoka eyapacca omuwala empi lwa kumugambako bamutanzizza emitwalo 40
By Peter Ssuuna
Journalists @New Vision
OMUVUBUKA kasunguyira eyava mu mmotoka n'apacca omuwala empi olw'okuba amugambyeko okubakubamu amataala kkooti e Mengo emutanzizza emitwalo 20 n'okusasula gwe yakuba emitwalo 40 nga bwe bimulema asibwe emyezi mukaaga mu kkomera.
 
Ayubu Ssennyange 25 ng'avuga Ambyulensi y'aweereddwa ekibonerezo kino oluvannyuma lw'okusingisibwa ogw'okukuba omuwala Maggie Nalweyiso 26 empi awatali nsonga.
 
Okusinziira ku bujulizi obwalumye Ssennyange, Nalweyiso yategeeza kkooti nti zaali ssaawa ttaano ogw'ekiro nga bava okulaba mupiira mu December 31, 2022 e Kawaala, mu kiseera nga bakubaganya ebirowoozo ng'omupiira guwedde, baalaba emmotoka ekika kya Noah eyajja ng'emazeeyo amataala kwe kunenya ku yali avuga nti lwaki abakubamu amataala bw'atyo!
 
Amangu dda omuvubuka ono yava mu mmotoka n'amukuba oluyi nga bw'amukomekkereza nti "ate sirika bwe naakwongerako olulala oggya kusibira magombe" era enkeera yasibira mu ddwaliro okufuna obujjanjabi n'akozesa emitwalo 470,000.
 
Maggie Nalweyiso

Maggie Nalweyiso

 
Mu kwewozaako, Ssennyange yategeeza nti omuwala ono yali atamidde era bwe yamugambako yamuvuma n'amuyiira omwenge kyokka nga ye musiraamu wabula bwe yalaba guli gutyo kwe kusalawo okudda mu mmotoka ye ne yeeyongerayo nga talina kyamukozeeko.
 
Omulamuzi Adams Byarugaba bwe yabadde awa ensala ye, yakizudde nti ddala Ssennyange yakuba Nalweyiso era n'ategeezezza nti teri muvubuka nga ye asobola kuleka muntu amuvumye n'atabaako ky'amutuusaako ate nga yamuyiira n'omwenge ng'abwanga nga musiraamu ekitegeeza nti ateekwa okuba yamukuba.
 
Yalagiddwa okusasula engassi ya mitwalo 20 era n'okuliyirira gwe yakuba emitwalo 40, nga bwe binaamulema asibwe emyezi 6 mu nkomyo.