OMUKAZI awuniikirizza abantu bw’akkirizza nti yatuga omwana wa muliraanwa ng’ayambibwako bba n’ekigendererwa ky’okulumya maama w’omwana gwe yali ateebereza okumwagalira bba.
Dative Ahimbisibwe, alina edduuka mu Mbaawo zooni e Mutundwe mu munisipaali y’e Lubaga ye yakwatiddwa n’atwalibwa ku poliisi y’e Mutundwe gye yakkiririzza nti ye yatuga omwana aludde ng’anoonyezebwa.

Namatovu (ku ddyo) maama w’omugenzi.
Okukwatibwa, Ahimbisibwe yasoose kuyita mukwano gwe amanyiddwa nga maama Hassan n’amubbirako ku kyama ky’aludde ng’asirikidde eky’okutta omwana wa muliraanwa ayitibwa Leticia Nangobi ow’emyaka esatu.
“Munnange saakugamba naye omwana Nangobi eyabula nze nnamutta nga njagala okulumya nnyina kuba nnali namulabula dda okumukwata awaluma nga tawulira,
azannyira ku baze,” Ahimbisibwe bwe yeetyetyeggudde.
Maama Hassan yadduse ku LC n’ategeeza ssentebe w’ekyalo James Bbosa, naye eyatemezza ku poliisi n’eyanguwa n’akwatibwa ng’akyali mu ppaaka ya ttakisi y’e Nateete ng’ateekateeka okulinnya.
Ahimbisibwe yatwaliddwa ku poliisi e Nateete gye yakoledde sitetimenti n’abannyonnyola engeri gye yattamu omwana.
“Omwana baali bamutumye ku dduuka okugula sswiiti. Namukwata omulundi gumu ne muyingiza mu dduuka ne mutuga. Yasooka kusambagala ng’abimba ejjovu, baze eyaliwo n’annyambako okumutuga okumumaliriza obulungi,” Ahimbisibwe bwe yagambye.
Yagasseeko nti oluvannyuma baayita Anthony Asiimwe omuvuzi wa bodaboda ne bamutikka omulambo n’agutwala aguziike eyo ebbali mu nsiko awatali bantu.
Olwamaze okukola sitetimenti, poliisi n’emutikka ku kabangali n’emutwala e Nabbingo gye baasanze Asiimwe. Kyategeerekese nti Asiimwe abadde apangisa ku nnyumba za Ahimbisibwe.
Bba wa Ahimbisibwe ayitibwa John Ssemakula baamuggye Nakirebe era bonna ne bakkiriza nga bwe beenyigira mu lukwe. Asiimwe yatutte poliisi mu
kisaalu e Nakasozi, Buddo gye yagambye nti gye yaziika omwana. Eno yasoose kugizunza mu nnimiro ya kasooli nga bw’agamba nti we yamuziikirawo mu April kasooli teyaliiwo, kyokka oluvannyuma lw’okusima mu bifo ebiwera, omulambo
baaguzudde ne baguggyayo. Omulambo gwasangiddwa nga gwazingibwa mu biveera ebigumu mukaaga kyokka nga gwasookakuzingibwa mu masuuka abiri. Ku
ngulu ebiveera bino baabiteeka mu kaveera aka bbulu.
“Bannange eby’okutta saabiriimu naye ng’omulambo nze nagutambuza ne nguziika kuba Ahimbisibwe mukama wange era nsula ku nnyumba ze,” Asiimwe bwe yalaajanye.
Nangobi ow’emyaka esatu yabula nga April
21,2022 bwe yali agenze ku dduukaeribali okumpi okugula sswiiti. Dative Ahimbisibwe ye nnannyini dduuka. Kyategeerekese nti maama w’omwana yatundako mu dduuka
lya Ahimbisibwe ng’omukozi naye oluvannyuma ne baawukana bubi. Yamugoba
ng’amulumiriza okumwagalira bba kyokka yasigala apangisa okumpi n’edduuka.Nangobi muwala wa Jane Namatovu ne Nicholas Mutenda ow’omu zooni eno eya Mbaawo e Mutundwe mu munisipaali y’e Lubaga. Okuva lwe yabula babadde ku muyiggo nga baggulawo omusango oguli ku fayiro SD
108/21/04/22.
Mutenda yagambye nti ye musajja Musoga tazannya era okuva omwana we bwe yafa abadde tatudde ng’akimanyi nti ekiseera kijja kutuuka eyabuzaawo omwana we azuuke era ekituufu kimaze ne kivaayo.
Sseentebe w’ekyalo Bbosa yasabye abazadde buli kiseera okwerinda abantu abayinza okutuusa obulabe ku baana baabwe kubanga abantu abamu emitima
gyafa. Kyokka yasabye n’abantu okwekuba mu kifuba nga bakola ebintu ebimu n’okwongera okutya Katonda.