Owassaluuni eyalonze obukadde 15 ku Grandcorner mu kampala n'azeezibika bamulondodde ne bamukwata

POLIISI erondodde n'ekwata omukazi eyalonze obukadde 15  ezaabadde mu ddoola n’asalwo okuzeezibika oluvannyuma lwa nnyini zo okumugwako bwe ayabadde ayita ku kizimbe kya Grand corner House mu Kampala.

Owassaluuni eyalonze obukadde 15 ku Grandcorner mu kampala n'azeezibika bamulondodde ne bamukwata
By Eria Luyimbazi
Journalists @New Vision
#Gazalanda #Kampala #Grandcorner #Owassaluuni #Ssente

POLIISI erondodde n'ekwata omukazi eyalonze obukadde 15  ezaabadde mu ddoola n’asalwo okuzeezibika oluvannyuma lwa nnyini zo okumugwako bwe ayabadde ayita ku kizimbe kya Grand corner House mu Kampala.

Tukahirwa Nga Bamutuusa Ku Poliisi.

Tukahirwa Nga Bamutuusa Ku Poliisi.

Sharon Tukahirwa, nga y’omu ku bateega bakaasitoma okusobola okubatwala okusiba enviiri abaakazibwako erya Sister Saloon  ye yakwatiddwa poliisi oluvannyuma lw’okumulondoola okuva nga January 14, 2025 bwe yalonda ssente  obukadde 15, 108,500 ezaagwa ku musajja Alvin  Victor eyali ayita ku kizimbe kya Grand Corner House ekirinaanye ekya Gazaland.

Ono yazeezibika n’abulawo nazo wabula abaamulabye ne bamuloopa ku poliisi.

Akulira poliisi ya Mini Price, Joseph Muliika yagambye nti Victor ssente yali azitadde mu nsawo y’empale kyokka bwe yali aggyayo esimu abeeko gw’ayogera naye ne zivaamu ne zigwa Tumuhirwa  n’azironda n’abulawo nazo n’ayingira ekizimbe n’ataddamu kulabika.

Yagambye nti Victor yeekubidde enduulu ku poliisi ya Mini Price n’aggulawo omusango ne batandika okunoonya Tumuhirwa wabula nga talabikako ne balondoola n’amasimu ge wabula nga yagaggyeeko nga ne layini zaako yazisudde n’afuna empya.

Yategeezezza nti okunoonyereza kwagenze mu maaso abaserikale ne bamukwatira e Namuwongo gy’asula era ne bamusanga ne ddoola 2200 ku ddoola 4100 ze yalonze  ne bamukomyawo ku poliisi ya Mini Price.

Kyazuliddwa nti era Tumuhirwa ku ssente zino abadde yaweerezaako mu kyalo bamugulireko ente nga abaesrikale bakyagenda mu maaso n’okunoonyereza. Tumuhirwa yatwaliddwa ku poliisi ya CPS ku musango oguli ku ffayiro nnamba SD 30/14/01/2025