Omwami wa kabaka e kyengera mwennyamivu ku bikolwa by'ekko ebisusse mu bantu.

OMWAMI wa Kabaka atwala omuluka gwe Kyengera,Denis Kayiga yennyamidde olw’ebikolwa eby’ekko ebyeyongedde ennyo mu bantu ensangi zino.

Omwami wa kabaka e kyengera mwennyamivu ku bikolwa by'ekko ebisusse mu bantu.
NewVision Reporter
@NewVision

OMWAMI wa Kabaka atwala omuluka gwe Kyengera,Denis Kayiga yennyamidde olw’ebikolwa eby’ekko ebyeyongedde ennyo mu bantu ensangi zino.

Kayiga yasinzidde Kyengera abakiristu b’ejje lya Bikira Maria bwebaabadde bajaguza olunaku lwabwe.

Kayigga yategeezezza nti ensangi zino abantu bangi bakola ebikolwa ebitajja nsa omuli okutta bannaabwe ewatali misango,ekibba ttaka ekiyitiridde n’ebilala n’asaba gavumenti okwongera amaanyi mu kufuuza  bantu abakola ebikolwa nga bino.

‘’Kyannaku nti ne mu bannabyabufuzi mulimu abakola ebiswaaza ng’okulya enguzi kyokka nga baalayira kuweeereza bantu abo abaabalonda ekintu ekitali kilungi era nga nsaba mukyuseemu kuba kiza eggwanga lyaffe emabega’’Kayiga bweyategeezezza.

Bukenya Tibulisiyo,omu ku bannajje abeetabye ku mukolo guno yasabye abakiristu bulijjo okufuba okulaba nga baba kimu naddala nga bakola emirimu gy’omukama basobole okufuna empeera .

Fr.Victor Ssemwogerere,eyabadde omugenyi omukulu yasinzedde wano n’asaba abakiristu b’e Kyengera okuyigira ku Maama Maria olw’omukwano n’ekisa by’alina eri abantu abalala nabo bakole batyo

Login to begin your journey to our premium content