Omuwala agambibwa okugezaako okutta omwana wa mugandawe naye yesse n'aleka ebibuuzo ku kyalo!

May 26, 2024

OMUWALA agambibwa okugezaako okutta omwana wa mugandawe, naye yesse n'aleka ebibuuzo ku kyalo ebikyali ebizibu okwanukula.

Omuwala agambibwa okugezaako okutta omwana wa mugandawe naye yesse n'aleka ebibuuzo ku kyalo!

Godfrey Kigobero
Journalist @Bukedde

OMUWALA agambibwa okugezaako okutta omwana wa mugandawe, naye yesse n'aleka ebibuuzo ku kyalo ebikyali ebizibu okwanukula.

Ettemu lino , libadde ku kyalo Nakigalala Cell e Kajjansi ku luguudo lw'e Ntebe Olivia Namaganda omukozi mu bbaala bw'agezezzaako okutta omwana wa mugandawe Natasha, nti naye oluvannyuma ne yetta.

Tekinnategeerekeka kivuddeko ttemu lino era ng'abatuuze bakyasobeddwa nga poliisi bw'egenda mu maaso n'okunoonyereza.

Omwana omulenzi afumitiddwa era ng'afunye ebiwundu eby'amaanyi, atwaliddwa ku Doctor's Hospital e Sseguku okufuna obujjanjabi ate gwo omulambo gwa Nakiganda abadde yaakamala wiiki ebbiri mu kifo ,  ne gutwalibwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Mulago, okugwekebejja.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, annyonnyodde nti omwana ono omulenzi, asangiddwako ekiwundu ku nsingo n'ebiwundu ebirala ku mubiri, so ng'ate n'omulambo gwa  Nakiganda, obulago bubadde busaliddwa n'okwefumita ku bbeere era ng'ekiso, kisangiddwa mu kifo ekyo.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});