Omuvubuka agambibwa okusamba omusaabaze n'agwa ku ttaka ne bamala ne bamubba akwatiddwa
May 26, 2024
Omuvubuka agambibwa okusamba omusaabaze n'agwa ku ttaka ne bamala ne bamubba akwatiddwa
![](https://newvision-media.s3.amazonaws.com/cms/9dc45e8c-f631-42ca-8b37-9a6903d1ed3d.jpg)
Omuvubuka agambibwa okusamba omusaabaze n'agwa ku ttaka ne bamala ne bamubba akwatiddwa
![](https://newvision-media.s3.amazonaws.com/cms/9eabc8ff-875f-4038-a774-3e1a0bf6aabd.jpg)
Godfrey Kigobero
Journalist @Bukedde
Omuvubuka agambibwa okusamba omusaabaze n'agwa ku ttaka ne bamubba ng'ali ne banne abalala , naye akwatiddwa .
Obubbi buno bulabikira mu katambi akasaasaanidde emikutu, nga kalaga omuvubuka ng'asamba Tomson Mugisha ow'e Kyebando bwe yabadde alinda takisi ku Ben Kiwanika Street mu Kampala.
Derrick Mugisa amanyiddwa nga Musota, agambibwa okusamba omusajja ono, y'akwatiddwa, nga kuno kw'ogatta ne banne abalala babiri okuli Peter Senyonjo amanyiddwa nga Kakima ne Nuur Lweyama gwe baakazaako erya Mutanzania.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Owoyesigyire agambye nti bano bakkiriza okwenyigira mu kikolwa kino ne bagattako nga bwe waliwo munnaabwe owookuna eyabadde abaduumira era nga naye bakyamunoonya.
No Comment