Omutembeeyi asindikiddwa mu nkomyo lwa kubba ssimu mu dduka lya Lady Bird e Wandegeya
OMUVUBUKA agambibwa okugenda ku dduuka e Wandegeya n'abbawo essimu asindikidwa mu kkomera e Luzira oluvannyuma lw'okusimbibwa mu kkooti ne yegaana omusango.
Nelson Arineitwe
By Paul Galiwango
Journalists @New Vision
OMUVUBUKA agambibwa okugenda ku dduuka e Wandegeya n'abbawo essimu asindikidwa mu kkomera e Luzira oluvannyuma lw'okusimbibwa mu kkooti ne yegaana omusango.
Nelson Arineitwe (27) omutuuze w'e Kamwokya mu Kampala nga akola gwa butembeeyi, y'asimbidwa mu kkooti ya LDC e Makerere mu maaso g'omulamuzi Martins Kirya n'asomerwa omusango gw'obubbi.
Kigambibwa nti nga August 11, 2022 e Wandegeya ku dduuka eriyitibwa Lady Bird Shop ku luguudo lwa Nkinzi, Arineitwe yabba essimu ekika kya Tecno Camon 19 ebaliriwamu ssente 1,200,000 nga yali ya Sharon Kuli.
Arineitwe omusango yagwegaanyi era omulamuzi Kirya n'amusindika mu kkomera e Luzira okutuusa nga May 29,2023 lw'anaddizibwa mu kkooti okutandika okuwulira omusango ogumuvunaanibwa.