Amawulire

Omusika wa Muzaata alagibwa December 4 e Kibuli

SUPREME Mufti, Sheikh Mohammad Galabuzi ayise abantu okwetaba mu dduwa y’omugenzi Sheikh Nuhu Muzaata Batte egenda okubeerawo nga December 4, 2022 e Kibuli.

Hajji Hassan Bulwadda Jr. ng’ayogera ku lwa banne eri abazze ku dduwa ya kitaabwe..jpg
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Dickson Kulumba

SUPREME Mufti, Sheikh Mohammad Galabuzi ayise abantu okwetaba mu dduwa y’omugenzi Sheikh Nuhu Muzaata Batte egenda okubeerawo nga December 4, 2022 e Kibuli.

“Mbayita okujja mu bungi okwetaba mu dduwa ya Munnaffe Sheikh Muzaata e Kibuli. Ate kw’olwo wagenda kubeerawo okulaga Omusika w’omugenzi owoomusaayi,” Sheikh Galabuzi bwe yategeezezza era n’alaga abantu olukiiko oluteekateeka omukolo guno.

                         Muzaata

Muzaata

Bino yabyogeredde mu dduwa y’omugenzi, Al-Hajj Hassan Bulwadda Snr. eyafa mu 2018 ku kyalo Seeta -Magere mu ggom- bolola y’e Nangabo ku Lwokuna n’ategeeza Abasiraamu nti ye takulembera kiwayi ky’e Kibuli wabula obukulembeze ne ofiisi ye eriwo kukuuma kitiibwa kya Busiraamu n’ebintu byabyo era n’akubiriza abantu okukuuma ebintu by’Obusiraamu.

Hajji Hassan Bulwadda Jr. era ye mumyuka w’Omwami w’eggombolola Ssaabaddu Kira, yasabye baana banne okwongera okulafuubanira obumu wakati waabwe nga lwe bajja okwongera okugaziya ffamire eno era ne yeebaza bonna abazze okwetaba ku dduwa eno.

Bamasheikh abaabuulidde okuli Sheikh Hamidu Tamusuza, Sheikh Shafiq Mafu n’abalala baasabye abakkiriza bulijjo okwagala Ka- tonda, abeetowaze ate abaagala bannaabwe kubanga buli omu waakuloza ku kufa nga kirungi okuleka erinnya eddungi.

 

Ffamire ya Bulwadda ngundiivu mu Busiraamu, ekika ky’Emmamba nga bano bava mu Ssiga lya Ssebawuttu e Nsaamu-Mawokota.

Okusinziira ku Bulwadda Jr, Abdallahziz Nsubuga Bulwadda ye muntu eyasooka okusiramuka mu Uganda nga si Mulangira ku mulembe gwa Ssekabaka Ssuuna II era yakolako ng’omutaputa we ow’Oluwalabu. Ye yakulemberamu Omuwalabu eyaleeta Obusiraamu, Ahemd Ibrahim oku mutuusa mu Lubiri ewa Kabaka.

Tags:
Omusika
Muzaata
alagibwa
December 4