POLIISI y'e Luweero ekutte omusamize Godfrey Lule agiyambeko okubuuliriza ku muyizi eyasaliddwa ekiso ku bulago ng'amusawula ekyamuviiriddeko okufa.
Sava Muntu (14) abadde asoma P4 mu ssommero lya Damasco P/S mu ggombolola y'e Kikyusa mu Luweero ye yattiddwa bwe yabadde atwaliddwa ku lusozi ew'omusamize ono okumugobako ebyawongo ebibadde bimutewanya.
Omwogezi wa poliisi mu Savanna ASP Sam Twineamazima ategeezezza nti omugenzi kitaawe amanyiddwa nga Kalyango oluusi nga yeeyita Konoweeka yabadde amusindise ku lusozi e Bugabo mu muluka gw'e Mabuye mu ggombolola y'e Kamira mu Luweero ew'omusamize ono abeeko byamukolako.
Kigambibwa nti omwana ku lusozi yagenzeeyo ne nnyina Christine Nabuuma oluusi gwe bayita Mumbejja era nti olwamaze okulya ekyeggulo n'agenda okwebaka ku kyoto n'omusamize nga nnyina naye yeebase kumpi n'ekyoto.
Wabula nti mu matumbibudde omusamize yasiseeyo ejjambiya n'akkira omwana n'amusala ensingo ku ludda olwa kkono era ekiwundu ne kimuviirako okufa
Nnyina olwalabye bino n'akuba enduulu era omusamize yabadde agezaako okudduka ne bamukwata.
Twineamazima ategeezezza nti nnyina w'omwana naye baamukutte abayambeko mu kunoonyereza nga omulambo baagututte mu ggwanika e Kasana okwekebejjebwa ate ebizibiti ne bitwalibwa ku poliisi