Amawulire

Omusajja abadde anyaga abantu ssente n'amasimu nga yeefudde agudde ku kabenje poliisi emuyigga

POLIISI ng'eri wamu n'ab'ekitongole ekivunaanyizibwa ku bantu abayingira n'okufuluma eggwanga bali mu kuyigga omusajja Wilson Okello 32 ow'e Tororo olw'ebigambibwa nti aludde nga yeeyita omukozi wa minisitule y'ensonga z'omunda

Omusajja abadde anyaga abantu ssente n'amasimu nga yeefudde agudde ku kabenje poliisi emuyigga
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

POLIISI ng'eri wamu n'ab'ekitongole ekivunaanyizibwa ku bantu abayingira n'okufuluma eggwanga bali mu kuyigga omusajja Wilson Okello 32 ow'e Tororo olw'ebigambibwa nti aludde nga yeeyita omukozi wa minisitule y'ensonga z'omunda , n'anyaga ku bantu ebintu omuli ssente, amasimu ne kkompyuta.

Kigambibwa nti ono aludde ng'agenda mu malwaliro ag'enjawulo nga yeefudde abeera agudde ku kabenje nti olwo ne yeenyigira mu kubba amasimu n'ebintu eby'enjawulo okuva ku balwadde n'abasawo.

Omwogezi wa minisitule y'ensonga ez'omunda mu ggwanga, Simon Mundeyi, yagambye nti kigambibwa nti waliwo bangi b'abbyeko ssente ng'abasuubizza okubafunira n'ebiwandiiko. Mundeyi era agasseeko nga bwe bagguddewo ofiisi ekola ku pasipoota e Jinja mu wiiki ewedde.

Tags:
Masimu
Bantu
Kabenje
Kubba