Omulangira Kasimu Nakibinge asabye abantu abafunye obugagga okukola eddaame

JJAJJA w’Obusiramu mu Uganda,Omulangira Dr. Kassim Nakibinge yebazizza omugenzi Hajj Musa Sserunjaabwa Ssewava olw’okuva mu bulamu bwensi ng’alamye engeri ebintu bye gyebddukanyizibwamu. “Buli muntu Allah gwabeera awadde eby’obugagga okuli abaana,ssente na buli kimu olina obuvunanyizibwa ng’okyalimulamu. Buli lwotakikola oba leese obuzibu eri gwe eyakikola naabo abaana bolese ku nsi. Omuntu ng’olina eby’obugagga buli lwotolaame,emmaali yo obeera ogiwadde bannaffe bano abaasoma amateeka,” Nakibinge bweyategezezza. Nakibinge yasabye abaana b’omugenzi yasabye abaana okusigala beebuzaanga ku mikwano gy’omugenzi,batambule nabo basobola okubawabulanga saako n’okuteekanga ebyo kitaabwe byeyayagalanga okuli okusigaza emmaali ye ng’ekula ebbanga lyonna.

Omulangira Kasimu Nakibinge asabye abantu abafunye obugagga okukola eddaame
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision
JJAJJA w’Obusiramu mu Uganda,Omulangira Dr. Kassim Nakibinge yebazizza omugenzi Hajj Musa Sserunjaabwa Ssewava olw’okuva mu bulamu bwensi ng’alamye engeri ebintu bye gyebddukanyizibwamu.
 
“Buli muntu Allah gwabeera awadde eby’obugagga okuli abaana,ssente na buli kimu olina obuvunanyizibwa ng’okyalimulamu. Buli lwotakikola oba leese obuzibu eri gwe eyakikola naabo abaana bolese ku nsi. Omuntu ng’olina eby’obugagga buli lwotolaame,emmaali yo obeera ogiwadde bannaffe bano abaasoma amateeka,” Nakibinge bweyategezezza.   
Jjajja W'obusiraamu Omulangira Kasim Nakibinge ng'abuuza ku Katikkiro

Jjajja W'obusiraamu Omulangira Kasim Nakibinge ng'abuuza ku Katikkiro

 
 
Nakibinge yasabye abaana b’omugenzi yasabye abaana okusigala beebuzaanga ku mikwano gy’omugenzi,batambule nabo basobola okubawabulanga saako n’okuteekanga ebyo kitaabwe byeyayagalanga okuli okusigaza emmaali ye ng’ekula ebbanga lyonna.
 
Omulangira Nakibinge yayogedde ku mugenzi ng’eyali omusajja munnabyanjigiriza,musigansimbi ate n’okusingira ddala byonna yali musajja munnaddiini atya Katonda-nga kyeyolekeranga mu bwetowaze bwe ate n’okulafubana okuyingiza abantu abasukka 100 mu busiramu.Yabadde mu dduwa y’ennaku 40 omwajjukiriddwa obulamu bw’omugenzi eyabadde mu gamu ku maka ge e Buloba-Wakiso mu ssaza ly’e Busiro ku lwa ssande January 22, 2023.
Mu kwogera kwe,Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yatendereza omugenzi okubeera omusaale mu kwenyigira mu mirimu gy’okuzza Buganda ku ntikko naddala bweyenyigira butereevu mu nsonga y’ettofaali.
 
 
“Enteekateeka z’Obwakabaka ng’aziwagira naye olw’okuba yali mwetowaaze nga tosobola ku kimanya. Mwebaza olw’okwenyigira mu lugendo lw’okuzza Buganda ku ntikko era  mbasaba mwenna twenyigire mu lugendo olwo era bwetunakitegera nga Hajj Ssewava bweyakitegeera,Buganda ejja kusigukulula ensonyi n’abatutawanya batutye,” Mayiga bweyasabye.
Samuel Sseddaalo nga y’akulira Olunyiriri lwa Lubinga Kigayaaza e Mulira-Ndejje e Bulemeezi  yayanjulidde abeetabye ku mukolo omusika w’omugenzi nga ye Habib Namakajja. 
Sseddaalo yategezezza nti Hajj Ssewava nga bweyali omukulu w’oluggya lwa Sserunjaabwa e Kalagala- Kapeeka e Nakaseke mu Bulemeezi,bajja kutegeka olumbe,omusika ayisibwe mu nnono y’ekika kyaabwe eky’emmamba Kakoboza ne Buganda okutwalira awamu.