Omulambo ogusangiddwa mu mwala e Butabika kusattizza abatuuze

ABATUUZE ku byalo okuli Butabika ne Kito B baguddemu ekikangabwa bwebagudde ku mulambo gw’omusajja nga gutengejjera ku mazzi mu mwala nga guyubuseeko amaliba gonna n’okuvaamu amannyo

Abatuuze nga baggyayo omulambo mu mazzi
By Huzaima Kaweesa
Journalists @New Vision

ABATUUZE ku byalo okuli Butabika ne Kito B baguddemu ekikangabwa bwebagudde ku mulambo gw’omusajja nga gutengejjera ku mazzi mu mwala nga guyubuseeko amaliba gonna n’okuvaamu amannyo.

Omulambo  gw’omusajja atategerekese olw’obutabeera na kiwandiiko kyonna kimwogerako gusangiddwa mu mwala ogwawula ebyalo okuli Butabika ne Kito era nga gwegwawula disitulikiti ya Kampala ku Wakiso.

Omulambo gulabiddwa omu ku batuuze abadde ayita ku mwala nga ono y’atemezza ku batuuze abakunnganye okulaba ogubadde.

Kyokka abatuuze bwebakunnganye okwetegereza omulambo bakizudde nga omuntu ono tamanyiddwa mu kitundu kyabwe nga kiteeberezebwa nti ono abadde yattiddwa mu bitundu ebirala n’asuulibwa mu mwala guno ogwamukuluggusiza.

Abatuuze nga baggyawo omulambo

Abatuuze nga baggyawo omulambo

Omulambo gusangiddwako ttatu ku mukono ogwa kkono, nga guzimbye, teguli mu ssaati, gwayubuseeko olususu lwonna,  gwefumbye  era nga teguliimu mannyo nga kiteeberezebwa nti ono alabika alina weyabadde azingiziddwa n’akubibwa n’attibwa n’oluvannyuma n’asuulibwa mu mwala.

Jimmy Magezi omutuuze mu Kito B ategezezza nga bwebafunye ekikangabwa mu kitundu kyabwe kyokka n’ategeea nga ono bw’atali muntu asoose okufiira ku mwala guno nga waliwo n’omuntu omulala era ayafiiramu gyebuvuddeko.

Ali  Sania nga y’amyuka atwala eby’okweringa mu kitundu akakasizza nga omuntu ono bw’abadde tamanyiddwa mu kitundu kyokka n’asaba abantu okukomya okutambula mu matumbibudde kubanga kiteeka obulamu bwabwe mu katyabanga.

Anokoddeyo abantu abalwa ennyo mu mabaala nti bano bakola kinene nnyo okuteeka eby’okwerinda by’ekitundu mu katyabaga .

Asabye poliisi okuvaayo bafuuze amabala agakola mu budde bw’amatumbi bakakibwe okukikomya ku lw’ebyokwerinda kw’ekitundu.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire ategezezza nga omulambo bwegutasangiddwako kigwogerako kyonnanga mu kiseera kino bakyagenda mu maaso n’okunoonyereza ku bimukwatako n’okuzuula engeri gyeyafuddemu.

Oluvannyuma poliisi okuva e Butabika nga eri wamu n’eya Kirinya etuuse neyekebejja omulambo negutwalibwa mu ggwanika e Mulago.