Omukazi akutte omwana wa muganda we n'amusuula mu Toilet wabula bagenze okumwekenneenya nga mugwi wa ddalu

 ABATUUZE ku kyalo kakerenge ekisangibwa mu gombolola ye Gombe baguddemu entiisa omukazi bw'akutte omwana wa muganda we n'amusuula mu kabuyonjo.  

Omukazi agambibwa okusuula omwana mu kabuyonjo
By Wasswa Ssentongo and Robert Sserwanga
Journalists @New Vision
 
ABATUUZE ku kyalo kakerenge ekisangibwa mu gombolola ye Gombe baguddemu entiisa omukazi bw'akutte omwana wa muganda we n'amusuula mu kabuyonjo.
 
Nazziwa Harriet 28 y'agambibwa okusuula omwana amanyiddwa nga  Adrisha Nakyejwe ow'emyezi omukaaga  mu Kabuyonjo nga kigambibwa nti omwana ono wa muganda we amanyiddwa nga Patricia Mirembe.
Okuzuula omwana ono kiddiridde abatuuze okuwulira ng'omwana akaabira wansi mu kabuyonjo ne bakola ekisoboka okutaasa omwana ono ne bamuggyayo
Omuvub uka ng'astitudde omwana gwebataasizza okufiira mu kabuyonjo

Omuvub uka ng'astitudde omwana gwebataasizza okufiira mu kabuyonjo

Fred Musoke ng'ayakulira eby'okwerinda ku kyalo kino agambye nga Nazziwa yagwa eddalu ng'obuzibu buno yabufuna bweyagenda ebweru okukuba ekyeyo gye yagwiira eddalu era ne bamuzza ku butaka.
 
Wabula Nazziwa bwatuuukiriddwa ng'ebigambo byayogera tebikwatagana nga agamba nti ye enjuba eri mu kumutambulirako era Mukama yamutuma kubeera Kakerenge.