Omukazi abadde yaakaggya muganzi we mu kkomera amufumise ebiso n'amuttirawo lwa kumusanga ng'apepeya ne bamalaaya

Janat Natukunda 21 ng'atunda kaboozi ka kikulu ku Mabiito Nateete B Zzooni mu Lubaga gamumyuse oluvannyuma lw'okutta bba gw'alinamu omwana

Omukazi abadde yaakaggya muganzi we mu kkomera amufumise ebiso n'amuttirawo lwa kumusanga ng'apepeya ne bamalaaya
By Peter Ssuuna
Journalists @New Vision
##Mabiito ##Nateete ##Muganzi ##Natukunda ##JanatNatukunda ##NateeteB

OMUKAZI abadde yaakaggya muganzi we mu kkomera ate amufumise ebiso n'amuttirawo lwa kumusanga ng'apepeya ne bamalaaya ku mabiito e Nateete.

Janat Natukunda 21 ng'atunda kaboozi ka kikulu ku Mabiito Nateete B Zzooni mu Lubaga gamumyuse oluvannyuma lw'okutta bba gw'alinamu omwana ng'entabwe evudde ku kumusanga na bakazi balala mu bbaala.

Natukunda Mu Kkooti.

Natukunda Mu Kkooti.

Kigambibwa nti Ronald Kintu amanyiddwa nga Rasta abadde mu kkomera e Luzira ng'avunaanibwa mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo kyokka olw'okuba Natukanda yali mu kiwubaalo kya muganzi we gw'alinamu omwana, yeegayirira omulamuzi okumuyimbula naye ne bisooka okugaana.

Okumanya Natukunda yali amaliridde okuggya baze mu kkomera, yeegayirira omulamuzi n'atuuka n'okuwandiika n'ebbaluwa eyoleka obwetaavu bwe gy'ali eyatwalibwa e Luzira okukaka ab'amakomera okuleeta omusibe mu kkooti newankubadde ennaku zaali tezinnatuuka.

Oluvannyuma omulamuzi yakkiriza era n'amuyimbula ekyawa Natukunda essanyu. Kiteeberezebwa nti nga Kintu ayimbuddwa, ebirowoozo byonna byamuli mu kwekulisa kkomera era yasibira ku ssente za mukyala we emitwalo 30 n'agenda mu bbaala okwewaamu.

Nga April 15, 2024 Natukunda yakebera nga ssente ze yali aterese teziriiwo. Olw'okuba yali akola gwa kwetunda, ku ssaawa 11:00 ez'olweggulo yagenda ku Mabiito nga bulijjo okunoonya ssente wabula eno gye yasanga muganzi we nga yeemiisa eccupa za bbiya nga n'abakazi bamuli ku lusegere bamubugiriza.

Kino kyamunyiiza naye ne yeefunira bakaasitoma basatu abaamugulira eccupa za bbiya mwenda. Okwetegereza ku bbali nga bba ali n'abakyala balala batandise okumunywegera ekyamuggyako waya ng'enjogera y'ennaku zino.

Okusinziira ku difensi w'ekyalo, Ssaalongo Kavuma eyaliwo nga bino bituukawo era eyakola sitaatimenti ku Poliisi, agamba nti omukazi yagwa omusajja mu bulago n'afuna ekiso n'atandika okumufumita mu kifuba, obulago ne mu kutu n'atandika okuvaamu omusaayi olwo Natukunda n'ateekako kakokola tondeka nnyuma.

Kintu abaaliwo baamuyoolayoola okumuddusa mu ddwaliro e Mengo nga mpaawo magombe gazza, omukazi yakwatibwa mu bunnambiro n'atwalibwa ku Poliisi e Nateete gye yaggulibwako ogw'okutta omuntu.

Ku Poliisi, yakkiriza nga bwe yamusse. Bino byabadde mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo Natukunda bwe yabadde asomebwa engeri gye yattamu bba era okusinziira ku ludda oluwaabi, lusuubirwa okwesigama ku ebyo bw'anaaba awozesebwa mu kkooti enkulu.

Omulamuzi Adams Byarugaba yamuwadde empapula ezimusindika mu kkooti Enkulu atandike okuleppukira eyo era n'addizibwayo e Luzira gy'akuumibwa okutuusa ng'ayitiddwa okutandika okwewozaako.