Omukadde w'ekkanisa ya Seventh day Adventist e Kayunga ayogedde ensonga lwaki yawasa omukazi nnamba bbiri nga agamba nti mukyala mukulu okunyumya akaboozi k'abafumbo ateekeddwa kusooka kusasula ssente era ono bw'alombojja ennaku omukazi gy'amulabizza tamala.
Agamba nti bamaze mu bufumbo emyaka egisoba mu 20 wabula amutulugunya okukamala omuli okumugoba mu nnyumba n'asula wabweru era nti obuyinza bwonna mu maka omukazi yabuwamba era ye omusajja takyalina bwogerero.
Maama w'abaana akkirizza nti aguza bba akaboozi oluvanyuma lw'omusajja okusuula obuvunanyizibwa bw'amaka nga tabawa byetaago.
Mutaawe Fred agamba nti mukazi we Fatumah Nakintu 40, yamugoba mu nnimiro era okuva lweyamusangayo n'amukuba emiggo era kati olumulaba nga amudduka ekintu ekimumazeeko emirembe kuno kwossa omukazi okuwemula wabula kino omusajja yakisalira amagezi, omukazi bw'atandika okumokkola nga naye amudiza nga baatika.
Ennyumba Omukazi Mweyagoba Bba. Ekif; Saul Wokulira
Bano batuuze ku kyalo Natteta mu Nazigo town council mu disitulikiti y'e Kayunga.
Mutaawe yeyekubidde enduulu mu b'amateeka era agamba nti omukazi yamussaako abantu abamunoonya era tajja kwerabira omukazi lweyamugoba mu nyumba ekiro wabula ebweru yasangayo abantu abamuteeze n'abeesimattulako n'addukamu nsiko era gyeyasula.
Mutaawe agambye nti ne wankubadde eddiini tekkiriza kuwasa mukazi mulala ono yamuyitirirako kwekusalawo afune ow'obwerere atali wakusasulira.
Mutaawe Nga Annyonnyola Omukazi Bw'amutigomya. Ekif; Saul Wokulira
Nakintu agambye nti omusajja obuvunanyizibwa yabusuula nga bw'adda awaka ayagala kulya kwokka ne fiizi z'abaana takyazisasula.
Collins Kafeero ow'amaka n'abaana e Kayunga atuuzizza abafumbo mu lukiiko olw'etabiddwamu n'abataka era n'abasomesa ku nzirukanya y'amaka.
Kafeero abuuliridde omukyala okubeera omuwulize eri bba olwo alyokke asumulule taapu y'ebyetaago ate omusajja naye n'amubuulirira okukwata obulungi omukazi.
Nakintu Nga Aliko By'annyonnyola. Ekif; Saul Wokulira