OMUJULIZI wa Gavumenti owookusatu mu gw’okulebula Pr. Robert Kayanja owa Miracle Centre e Lubaga obujulizi bwe yawa bukubiddwamu ebituli ba looya b’awawaabirwa n’atuuka n’okutegeeza kkooti nti alina ekizibu ky’okwerabira ng’ebisinga bye bamubuuza takyajjukira byaliwo ddi.
Adrian Ssebbaale y’atankanye ne bye yayogera okusooka ng’alumiriza banne okwekobaana okuluka olukwe lw’okutattana erinnya lya Pr. Kayanja bwe yategeeza nti baatuuka n’okukwata akatambi ng’asala enkoko omusaayi ne guteekebwa mu bikozebwa mu kaabuyonjo okusindikira Pr. Ssennyonga nti Kayanja yali abakolako ebikolwa by’ekikukkuju.
Bino bibadde mu kkooti ya Nateete Rubaga e Mengo mu maaso g’omulamuzi Adams Byaruga Ssebbaale bw’agasimbaganye ne Bapuliida b’awawaabirwa abaakulembeddwamu Hamphrey Tumwesigye abaamukunyizza n’atankana ne bye yasooka okwogera.
Yategeezezza nti Sitaatimenti gye yakola, yakakakibwa omuserikale Nandutu nti ng’ayagala ekwatagane n’eyabanne kyokka bwe bagimulaze n’ategeeza nti si ye yagiteekako mukono nti n’erinnya lyawandiikibwako mu nnukuta nnene wabula ye awandiika mu ntono ekitegeeza si ntuufu.
Abavunaanibwa nga bali mu kkooti
Ekirala yategeeza nti bwe baalumba ekkanisa ya Miracle Centre baali babanja ssente ze baakolera era amangu ddala baatuzibwa ne basasulwa nga n’ebiwandiiko weebiri ebikakasa ekyo naye bwe bireeteddwa n’abyegaana nti biraga mwaka 2020 kyokka bino byaliwo 2021 newankubadde kubaddeko omukono gwe.
Eky’okuleeta ebifaanyi nga basisinkanye Pr. Ssennyonga yagambye tabirina kubanga yamusaba okwebisa naye n’akigaana era tajjukira na lunaku lwe baasisinkana.
Yagamba nti nga tannagenda wa Kayanja, yava ku luguudo mu mwaka 2016 ng’asoma ssiniya ya kusatu oluvannyuma lwa kitaawe okumugoba awaka olw’obubbi era bwe yatuuka ku kkanisa n’akyusa enneeyisa n’ava ku mize gino ne yeegatta ku kitongole ekikuumi newankubadde abadde tajjukira ddi lwe yakyegattirako.
Tumwesigye we yasimbudde ekibuuzo nti kijja kitya omuntu eyalokoka mu 2016 ate mu 2021 okutandika okweyisa obubi okwali n’okuteekateeka olukwe okubba mukamawe n’okumuwaayiriza nga bwe yagamba nti baali baagala ku muggyako ssente (Kayanja) kwe kugenda ewa Ssennyonga ssaako okusala enkoko okukakasa nti ddala yali abakolako ebikolwa by’ekikukujju.
Puliida yasabye kkooti omujulizi aleme kuwulirizibwa na kutwala by’ayogera kubanga yeefuula ng’obujulizi bw’ayogera tebwesigika ayinza okuba ng’alimba oba nga tajjukira by’ayogera.
Oluvannyuma kkooti yakkirizza okweyimirirwa kwa Israel Wasswa eyali omukuumi wa Pr Ssennyonga ne Jamir Mwada amyuka Ssentebe wa Kiganda Zzooni ne bayimbulwa ku kakalu kayo ka bukadde bubiri ezoobuliwo n’ababeeyimiridde obukadde 10 ezitali zaabuliwo.
Kkooti omusango yaguwadde ennaku endala ssatu okuli olwa nga November 10, December 11 ne 13, 2023 guddemu