MUNNAYUGANDA ate ng’alina obutuuze e Bungereza eyakomyewo okukuba mukyala we embaga mawuuno eyamazeewo akawumbi kalamba afiiridde mu mugga gwa River Nile ku biyiririiro bya Murchison Falls gye yabadde agenze ku Honeymoon.
Lawrence Kakooza 45, omwana enzaalwa ey’e Ggoolo mu Ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi distulikiti ye yafudde ku Lwokusatu akawungeezi ku Murchison Falls gye yabadde agenze ne mukyala we Justine Nabwami n’abaana baabwe bana okuli abalenzi basatu n’omuwala omu.
Kakooza ne mukyala we
Kevin Ssewakiryanga omu ku bagagga abamaanyi mu bitundu bye Ggoolo ate ng’akuze naye agamba nti Kakooza yakomawo mu Uganda mu July/2022, okwanjula n’okukuba mukyala Nabwami embaga gwa maze naye e Bungereza emyaka egisukka 20, era ne bakola okwanjula mu maka ga bakadde ba Nabwami e Magere ku lw’e Gayaza nga July,30,2022 okwali okwamaanyi nga kwaliko n’omuyimbi Rema Namakula ne Chosen Becky.
Oluvannyuma nga August/06/2022 baakola embaga mawuuno eyasombola abayimbi abaamanyi mu Uganda abasukka mu 10. Okwali Eddie Kanzo, Eddie Yaawe, B2C, Maddox Ssematimba, Irene Namatovu, Chosen Becky, Mariam Ndagire, King Shaha, Spice Diana n’abalala.
Omugagga gwa River Nile
Era kigambibsa nti okumanya embaga yali y’amaanyi omutimbi yekka yamalawo obukadde 150, ebidongo obukadde 80, omukyala yaweebwa mmotoka kapyata ekika kya Audi Q.7 ne birala.
Okwawukana ku mbaga ezibeera mu woteeri ez'amaanyi, wadde Kakooza ensimbi zibadde zimuyitaba naye embaga ye yagitegekedde mu maka ga jjajja we Lawrence Kakooza e Ggoolo mu Mpigi.
Nga kino Kakooza yakisaba mukyala we Nabwami kibeere bwekiti kubanga ye Nabwami okusooka yali ayagala embaga eno ekolebwe Bungereza oluvannyuma ne bakkaanya.
Kakooza ne Nabwami bwe bamaze okukola embaga olw'okubeera nga balina ssente nnyingi bakoze obubaga obw’enjawulo.
Omugga River Nile omugagga mw'afiiridde
Era ku Lwokubiri Kakooza bweyamaze okukubagiza ku kyalo e Ggoolo omutaka eyafudde n'abawa 500,000/- yasimbudde ne ffamire ye ne bagenda okulambula ebifo ebye njawulo mu Uganda .
Bagenze ku Murchison Falls ne basula ku woteeri ya Gipir And Labongo ku Lwokusatu olw’eggulo era Kakooza ne mutabani we omukulu bagenze okuwuga omukyala n'asigala mu woteeri n’abaana balala .
Omugole Nabwami eyafiiriddwa omwami we
Kakooza yagenze okulaba nga wadde mutabani we kafulu mu kuwuga ng’alinga alemereddwa bwe yagenze okumuyamba ate ye n'afiiriyo ate omwana n'awoona.
N’okutuusa kati omulambo gwa Kakooza poliisi yabazimya mwoto gattako abakugu okuva ku kitebe kya Bungereza bakyagenda mu maaso n'okugunoonya tegunnalabika.