Bya Joan Nakate
Omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti y’e Mukono alabudde okufafaagana n’abantu abagufudde omugano okusuula ebibaluwa mu bitundu by’e Mukono eby’enjawulo ebiteeka abantu ku bunkenke.
RDC Fatumah Ndisaba, asinzidde mu kkanso ya disitulikiti eno esookedde ddala n’ategeeza ng’ab’ebyokwerinda bwe baazudde abantu abalwana entalo okuyisaawo ebyabwe,abasalawo okwewandiikira ebibaluwa era nga ba kubanoonyerezaako oluvanyuma bavunaanibwe.
Ono asabye ba ssentebe b’ebyalo okuttukiza enkola ey’okuwandiisa abantu abapya ababeera bazze mu kitundu era bafube nnyo okumanya abantu b’okubyalo byabwe n’ekigendererwa eky’okunyweeza eby’okwerinda by’ebitundu byabwe.
Omukubiriza w’olukiiko luno Betty Nakasi asabye gavumenti ya wakati okubawa ku nsimbi okwongera okubangula ba kkansala okumanya obuvunaanyizibwa ne bwe balina okukola emirimu gyaabwe.