DDAMBA TADEO
OMUBAKA wa Kira Municipality Ibrahim Ssemuju Nganda yeegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lwa Idi Aduha,Olunaku luno alukulizza mu Maka ge e Bukasa Mu Gombolola ye Bweyogere Kira Municipality .
Asinzidde mu Kusaala kuno n'akubiriza bannayuganda okukuliza abaana baabwe mu ddiini nga kino kyekiyinza okuyamba okumalawo ebikolwa by’obuli bwenguzi obufumbekedde mu ggwanga.
Akulisiza abayisiraamu okutuuka ku lunaku luno n'akuutira bannayuganda okwongera okwetangira ekirwadde kya Covid 19.
Olumaze okusaasala atuukiliza akaolombolombo k’okusadaaka nga enyama wakigigabana nabo abali mu mbeera embi kwosa mikwano gye nga Kuruhani bwelagira ku lunaku luno