Amawulire

Omubaka Naluyima yennyamidde olw'omwana ow'obulenzi atafiibwako: 'Amaanyi tugatadde nnyo ku bawala'

Betty Ethel Naluyima omubaka omukyala owa disitilikiti y'e Wakiso mu palamenti yennyamidde olw’obutabaguko obususse mu maka naye ng'obuzibu buva ku baami.

Omubaka Naluyima yennyamidde olw'omwana ow'obulenzi atafiibwako: 'Amaanyi tugatadde nnyo ku bawala'
By: Samuel Tebuseeke, Journalists @New Vision

Betty Ethel Naluyima omubaka omukyala owa disitilikiti y'e Wakiso mu palamenti yennyamidde olw’obutabaguko obususse mu maka naye ng'obuzibu buva ku baami.

" Obutabanguko mu maka buva ku kya kuba nti omwana omuwala afiiriddwaako, ate ow'obulenzi n'atafiibwako, bw'atyo n'akula nga talina buvunaanyizibwa," Naluyima bwe yategeezezza.

 Naluyima bino yabyogeredde Kasangati ku ofiisi ya 'Talent Enabling Uganda' ku mukolo abakulembeze kwe baabadde bakubaganyiza ebirowoozo ku nkuza y’omwana omuwala.

Yagambye nti ebibiina by'obwannakyeewa byona ebisinga obungi bifudde nnyo ku mwana ow'obuwala ne beerabira nti omuwala oyo agenda kuwasibwa mulenzi atali muteeketeeke enkintu ekisinze okuleeta obutabaguko mu maka, n'asaba nti n’omwana ow’obulenzi naye y'essaawa afiibweko.

Okello Alex omutandisi wa 'Talents Enabling' yategeezezza nti basazeewo okutandika ekibiina kino okuyambako abantu mu kitundu e Kasangati ng bsyita mu kubasomesa mirimu gy'emikono.

Okusinga essira balitadde ku baana bawala nga babawa amagezi ku ngeri gye basobola okwewala okukwatibwa obulwadde bwa Fisitula.

Tags: