Omubaka Nakuti akalaatidde ab'e Karamoja okussa Gavt ku nninga okutuusa obuweereza

OMUBAKA omukyala owa disitulikiti y'e Napak, Faith Nakuti, aweze okwongera okuteeka gavumenti ku nninga  okulaba nga  abantu be b'akiikirira okuva e Karamoja bafuna obuweereza obusaanidde nga bweguli mu bitundu by'eggwanga ebirala.

Omubaka Nakuti akalaatidde ab'e Karamoja okussa Gavt ku nninga okutuusa obuweereza
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMUBAKA omukyala owa disitulikiti y'e Napak, Faith Nakuti, aweze okwongera okuteeka gavumenti ku nninga  okulaba nga  abantu be b'akiikirira okuva e Karamoja bafuna obuweereza obusaanidde nga bweguli mu bitundu by'eggwanga ebirala.

Nakuti okwogera bino yasinzidde ku kyalo  Odiche e Napak bwe yabadde asisinkanye abalonzi be okubeebaza olw'okuddamu okumussaamu obwesige okukwatira ekibiina bbendera okuvuganya ku kifo ky'omubaka omukyala owa Napaka mu kulonda kwa bonna okwa 2026 .

Wabula yalaze obutali bumativu olw'abaana abayitiridde okkukusibwa okuva mu disitulikiti eno ne batwalibwa nga ku nguudo z'e Kampala okusabiriza nga kw'otadde n'okutwalibwa mu bifo ebyenjawulo okukola obwayaaya n'emirimu emirala mingi egyesittaza..

Napak ng'ajaganya n'abawagizi be

Napak ng'ajaganya n'abawagizi be

Yabasuubizza nti okusomoozebwa kuno kw'agenda okutandikirawo okulaba nga kugonjoolwa .

Mu ngeri y'emu yeebazizza akakiiko ka bannamateeka akaateekebwawo Pulezidenti Museveni okuwulira emisango egy'ababbibwa obululu mu kamyufu ka NRM, n'ategeeza nti kasaze mazima bwekalangiride nti ye kandideeti omutuufu eyawangula mu kamyufu k'ekibiina.

Kino kyaddiridde munne gwe yavuganya naye Stella Naome  okumuwawaabira nga awakanya ebyava mu kalulu wabula ko akakiiko ne kasala amazima.

Omubaka Faith Nakuti ng'abuuza ku balonzi be mu disitulikitti y'e Napak

Omubaka Faith Nakuti ng'abuuza ku balonzi be mu disitulikitti y'e Napak