ABANTU bataano abagambibwa okuwamba n’okusaddaaka omwana Hope Biyinzika bazzeemu okulabika mu kkooti ne babasomera omusango kyokka tebakkiriziddwa kubaako kye boogera ne bazzibwa ku limanda e Luzira. Abawawaabirwa okuli Fatuma Nansubuga, Allan Ssenkuba (muganzi wa Fatuma), Shalif Mali, Fred Kayemba ne Shafik Katongole omusawo w’ekinnansi be baasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Stephen Waidhuba ow’eddaala erisooka mu kkooti y’e Mukono. Olwamaze okubasomera omusango, Omulamuzi Waidhuba n’abategeeza nti kkooti ye terina buyinza bubawozesakuba omusango ogubavunaanibwa gwa nnaggomola. Yabategeezezza nti kkooti ye ekola ku biwandiiko, omusango gwabwe egwongereyo mu Kkooti enkulu. Omulamuzi yalagidde abawawaabirwa bazzibwe ku limanda e Luzira okutuusa August 8, 2024. Kinajjukirwa nti nga September 22, omwaka oguwedde, Hope Biyinzika, muwala wa Vincent Kakonge ne Mwajabu Bwega ab’e Namaliri mu ggombolola y’e Kasawo e Mukono, yabuzibwawo okuddamu okumulaba nga bamususse ne bamusuula mu kaabuyonjo ya muliraanwa