Dr. James Muwanga omusawo w’ensolo era omulunzi w’embuzi, agamba nti ekirwadde ekisumbuwa abalunzi b’embuzi okw’etoloola eggwanga kiyitibwa PPR (Pest de Petit Ruminantes) nga buno bwa kawuka (Virus).
Buno buvaako embuzi okufa n’okusowola era nga nabwo osobola kubutangira na kugema.
Embuzi nga zino zeetaaga okwegendereza okuzitangira okulwala.
Dr. Muwanga agamba nti obulwadde buno buleetera embuzi okufuna empewo mu mawuggwe ne zikaluubirizibwa okussa (Nimoniya), okuddukana, okuvaamu embuto n’okufa mu bungi.
“Obulwadde buno buleetebwa kawuka ka Virus okusinga nga kava mu bitundu bya Karamoja ng’embuzi bwe zikwatibwa zifa mu bungi wabula nga butangirwa na kugema kyokka nga busobola okujjanjabwa ne buwona wadde ng’embuzi enkazi singa ejanjabwa n’ewona eyinza obutaddamu kufuna lubuto”, Dr. Muwanga bw’agamba.
Obuwuka bwa Bacteria: Abalunzi basagambya nnyo olw’omuddo omuto ogumera olwo ne baliisa ensolo zaabwe.
Wabula omulunzi osaanira okukimanya nti amazzi bwe gasukka mu musso kisobola okuviirako ensolo okufuluma obusa bw’amazzi ne zibeera ng’eziddukana kuba abazzi gazijjula mu mbuto ate nga gubeeramu ekirundo kya Fibre kitono okuyambako mu kukuba emmere mu lubuto.
Waliwo n’obulwadde bwa Clostridials, nga bukwata kyakubiri mu businga okutta embuzi. Kano kawuka kika kya Bacteria nga kakwata kibumba, ensigo, ebyenda n’omutima ne bifuuka ebiddugavu.
Buno buvaako embuzi okufuka omusulo omuli omusaayi, okufa ekikutuko n’abalala ne bakiyita okulya akawulula! Buno osobola okubugema ku mwezi esatu nga maama ali lubuto okutangira abaana abagenda okuzaalibwa.
Comments
No Comment