ABAGANDA baalugera: Tokiiya hhenge nto. N’abaajereganga omwana eyazaalibwa ng’aliko obulemu eyo wansi mu kyalo ekimu e Rwanda nga bamuyita enkima, enkobe abandi nti ssewazzike, kati bwe bamulabako bajula kumusinza.
Bwe bakutuma bassereebu 10 abasinga mu Rwanda, akalenzi kano akayitibwa Elie Nsanzimana (abamu ke baali baakazaakazaako erya ‘Kakima’), kakwata kya ku mwanjo. Ekikafudde kassereebu, abantu ab’enjawulo bakadduukiridde ne bakakyusa endabika n’okukatimba ku mitimbagano!
Nsanzimana yazaalibwa mu 1999. Nnyina ayogera ku mutabani we ono ng’ekirabo okuva eri Katonda kubanga yali azadde emirundi etaano (5) ng’abaana be bafa. Ono
owoomukaaga, Katonda yamulekawo nga mulamu newankubadde enfaanana ye ng’ekirako enkima. Nnyina (eyasalawo okusirikira erinnya lye eri bannamawulire)
agamba nti oluvannyuma lw’okufiirwa abaana abataano, yafukamira ne yeegayirira Katonda.
Bwe yayanukulwa, yazaala omwana eyali alabika mu ngeri eteri ya bulijjo. Omwana ono yakula n’obulemu ku bwongo nga talina busobozi kuyiga bintu bya mu kibiina
wadde okuzannya ne banne nga n’okwogera kwagaana, n’afuuka omugugu eri abazadde be naddala nnyina nga abantu b’oku kyalo bagamba nti yazaala ekikulekule ky’omwana!
Nnyina agamba nti olwokuba omwana ono yafuuka ekyerolerwa ku kyalo bwe yalabanga abantu abamusekerera ng’adduka awaka n’asiibanga mu kibira ekiyitibwa
Nyungwe Forest ng’azannya n’enkima okumala emyaka 15. Nnyina yamuleka azannyire mu kibira era bwe bwawungeeranga ng’omutabani akomawo awaka. Kyokka nnyina agamba nti eky’omwana ono okufuna emikwano emipya (enkima) egitaamusosolanga
kyamutikkulako ku mugugu gw’abaana abaamuyitanga enkima - ssewagaba, abalala
nti nkobe ate abalala nti zzike.
N’olulimi yayiga lwa nkima. Nsanzimana yatuuka ekiseera nga takyayagala kulya
mmere nfumbe ng’ava mu kibira ng’akkuse ng’ayagala nnyo n’okumeketa emmere embisi nga muwogo, kasooli, lumonde n’ebirala.
Era olw’omwana ono okuddukanga n’abula awaka, nnyina yamusibako ku muguwa obutamubulako okutuusa lwe yafunamu ku
kalembereza.
OLUGENDO LW’OKUKYUSA OBULAMU BWA NSANZIMANA
Obulamu bwa Nsanzimana bwatandika okukyuka ku lunaku omukutu gwa Afrimax Ltd (ogukwata abantu abeetaavu ku ntambi za vidiyo ne gufuna ababawa obuyambi)
e Rwanda bwe gwakyalako mu maka ga nnyina. Omukyala ono era nga nnamwandu,
yasangibwa mu kayumba ke ak’akadongo mwe yasulanga ne mutabani we nga
n’okufumba mw’afumbira. Oluvannyuma lw’okufulumya emboozi
ye ku mikutu nga You Tube n’emirala, yafuna abadduukirize bangi abaaleeta obuyambi ne bakyusa obulamu bwa famire eno. Bano baatandikira ku kubazimbira ennyumba empya ey’omulembe (ey’ebisenge bisatu) ng’erimu ne ssiiringi ne babateeramu
n’entebe amatiribona ne babeera n’amaka ag’enjawulo ennyo ku kyalo nga n’abaasekereranga omwana ono tebagalina.
BAMUTWALA MU SSOMERO
Bwe baatuuka ku Nsanzimana, baamusoosa mu saluuni okumusalako omuviiri ogwali gukwatiridde ekyenyi kyonna ng’akirako ‘baganda be’ be yazannyanga nabo mu nsiko, kyokka n’agaana okumusazisa ‘machine’. Bwe baamulemerako n’asalawo okubalumaaluma.
Kyokka bwe baaleeta makansi n’akkiriza okumusala. Kye bazzaako kwe kumuyonja
ne bamugulira engoye empya ttuku omuli n’amasuuti gano aga ba ‘star’, n’ensawo ennene gye bavugira ku bupiira n’ayiga okugikwata ng’ogamba nti nnaggagga agendako Bulaaya kuwummulako!
Baamutwala mu ssomero ly’abaliko obulemu erya Ubumwe Community Centre erisangibwa mu ssaza lya Western Province e Rwanda n’ayiga okubeera mu bantu nga tabadduka n’okuzannya
n’abaana abalala.
Oluvannyuma lw’emyaka
ebiri nga Elie Nsanzimana asoma,
yakyukira ddala okuva mu
bulamu bw’omu kibira nga kati
yamanyiira okubeera mu bantu
n’okutambulira ku nguudo z’omu
kibuga nga tadduka ng’alengedde
ekidduka. Kati abantu bayaayaana
okwekubya naye ebifaananyi.